TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko ka COSASE kasembye abakungu ba Bbanka Enkulu abeenyigira mu mivuyo bavunaanibwe ssekinnoomu

Akakiiko ka COSASE kasembye abakungu ba Bbanka Enkulu abeenyigira mu mivuyo bavunaanibwe ssekinnoomu

Added 23rd February 2019

LIPOOTI y’akakiiko ka Palamenti aka COSASE akabadde kabuuliriza ku by’okuggala bbanka ezitali zimu kasembye abakungu ba Bbanka Enkulu abeenyigira mu mivuyo bavunaanibwe ssekinnoomu.

Abakungu ba Bbanka Enkulu bonna abataatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe n'okwenyigira mu mivuyo egyenjawulo bateekeddwa okukisasulira.

Okufiirizibwa kwonna okwatuuka ku bbanka ezaggalwa omuli n'okutunda ebyobugagga byazo ekitongole kirina okuvunaanyizibwa okubizzaawo.

Lipooti eyayanjuddwa Abdu Katuntu (Bugweri) abadde ssentebe w'akakiiko ku Lwokuna akawungeezi yalaze nti Bbanka Enkulu yalemwa okubalirira ebyobugagga bya bbanka okuli; Crane Bank, Global Trust Bank ne National Bank of Commerce.

Ekimu ku kyewuunyisizza ababaka kwe kuba ng'omukungu wa Bbanka Enkulu, Edward Katimbo Mugwanya eyaweebwa obuvunaanyizibwa bw'okuddukanya Crane Bank baatuuka okugiguza Dfcu ku buwumbi 200 nga tategedde era yabitegeerera ku mukutu gwa WhatsApp.

Wadde nga Bbanka Enkulu yategeeza nga bwe yateeka obuwumbi 478 mu Crane Bank mu myezi esatu gye yamala ng'egiddukanya, kyokka tewali ntegeka yakolebwa kugizza ngulu nga baalina ekigendererwa kimu kyakugitunda.

Okunoonyereza kwabadde ku bbanka musanvu okuli; Teefe Trust Bank, International Credit Bank, Cooperative Bank, Greenland Bank, Global Trust Bank, National Bank of Commerce ne Crane Bank Limited.

Ababaka bajja kukubaganya ebirowoozo ku lipooti eyayanjuddwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kigonvu (ku ddyo) ng'annyonnyola omuserikale ebikwata ku ttaka lino.

Omusika atabuse ne nnyina l...

WAABADDEWO akasattiro ku kyalo Kabuuza e Matugga mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, abaana b’omugenzi...

Abamu ku batembeeyi nga batadde emmaali yaabwe wabweru w’amaduuka agaliraanye ekibangirizi ky’omu Kikuubo mu Kampala.

Abasuubuzi boogedde bwe bak...

ABASUUBUZI b’omu Kampala abeegattira mu bibiina ebyenjawulo beekokkola embeera ey’ebyobufuzi eriwo naddala ebyokulonda...

Hudu Hussein eyalondeddwa okubeera omubaka wa pulezidenti mu Kampala.

Nsookera ku kugatta Bannaka...

HUDU Hussein eyalondeddwa ku bwa RCC wa Kampala agambye nti ky’atandikirako kwe kugatta Bannakampala bave mu njawukana...

Looya Fred Muwema ng’aliko by’annyonnyola Ham (wakati) bwe baabadde ku kkooti ejulirwamu eggulo.

Kkooti egobye okusaba kwa B...

KKOOTI ejulirwamu egobye okusaba kwa Bbanka enkulu (BOU) mw’ebadde eyagala okugattibwa ng’abatalina ludda mu musango...

Minisita Ssempijja e Lukaya ng’ayogera eri abawagizi be.

Minisita Ssempijja akyayomba

MINISITA Vincent Bamulangaki Ssempijja eby'okumukuba akalulu byongedde okumutabula. Okuva lwe yawangulwa, anenyezza...