TOP

Awagidde eky'okusimbawo Museveni mu 2021

Added 23rd February 2019

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku ntikko mu NRM aka Central Executive Committee (CEC) okusemba Pulezidenti Museveni addemu yeesimbewo ku bwapulezidenti mu 2021.

 Abbey Walusimbi ng'ali ne Pulezidenti Museveni

Abbey Walusimbi ng'ali ne Pulezidenti Museveni

Kino kyatuukiddwaako mu lusirika lwabwe olw'ennaku ettaano olwatudde mu Chobe Safari Lodge mu kkuumiro ly'ebisolo erya Murchison Falls National Park mu disitulikiti y'e Nwoya.

Olukiiko luno lwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni mu kiti kye nga ssentebe wa NRM mu ggwanga nga lwetabyeko abakulembeze ba NRM ab'enjawulo.

Kino kitemyemu abantu bangi ng'abamu bakiwagira kyokka abalala naddala ab'oludda oluvuganya gavumenti bakivumirira.

Kyokka Haji Walusimbi yategeezezza nti bo nga Bannayuganda ababeera mu mawanga ag'ebweru baakisanyukidde kubanga Uganda ekyetaaga Pulezidenti Museveni okusobola okunyweza n'okukuuma ebituukiddwaako mu myaka 33 egy'obukulembeze bwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...