
Mubiru abadde amanyiddwa nga Juma Nature eyattiddwa.
Juma Mubiru amanyiddwa nga Juma Nature ow'e Kawempe abadde amanyikiddwa nnyo mu bitundu by'e Kyebando, Kanyanya, Mpereerwe, Kaleerwe ne Mulago yakwatibwa poliisi y'oku Kaleerwe eyali ekulirwa Dan Ampadde mu 2015 ku misango egitali gimu okuli ogw'okukuba abantu ekiro.
Mubiru yakwatibwa n'omuvubuka amanyiddwa nga Hamza Dog ng'ono omulamuzi yamusalira emyaka 10 ng'ali Luzira oluvannyuma lwa Walakira ow'omu muluka gwa Makerere III e Kawempe okumuwaako obujulizi nga bwe yamutungulamu eriiso ate Mubiru baamusalira emyaka esatu nga yagimazeeko nga January 28 omwaka guno n'ayimbulwa era yatuukidde ku Kaleerwe mu Ddobi zooni mw'abadde asula.
Kigambibwa nti ddiiru y'okubba e Kansanga Mubiru yagifunira mu kkomera ng'era abamu ku baayimbuddwa naye be baagimubalira okutuusa mu kiro ekyakeesezza ku Ssande bwe baakwataganye ne balumba amaka agamu e Kansanga ng'eno abakuumaddembe gye baamukubidde amasasi mu magulu bwe yabadde agezaako okudduka abatuuze ne bamumaliriza.
Yagasseeko nti baabadde mukaaga abalala ne badduka.
Mubiru abadde amanyiddwa nnyo ku poliisi z'omu Kawempe nga mu kukuba abaserikale abadde akwata kisooka. Baamuziise ku Mmande ku kyalo Kisamula e Mityana.