
Kino kiddiridde akakiiko ka CEC okuyisa ekiteeso ekiwa Pulezidenti Museveni enkizo obuteesimbwako nga kironda anaakikwatira bendera mu kuvuganya ku ntebe y'obwa Pulezidenti.
Ekiteeso kino kigenda kutegezebwa ebitongole bya NRM ebirala. Anaakikirira NRM alina kulondebwa ttabamiruka wa kibiina.
Kyokka Ssekikubo eyabadde ayogerera ku leediyo ya FM emu mu Kampala ku nkomerero ya wiiki yagambye nti oluvannyuma lw'emyaka 35 mu buyinza, Pulezidenti Museveni yandibadde tagaana kumuvuganya kuba kinafuya abandyagadde okumuddira mu bigere.
‘'Tugenda kukozesa amakkubo gonna agasoboka omuli n'okweyambisa kkooti okuwakanya ekyasaliddwaawo CEC. Tuwulira enyiike okuba nga Museveni kino teyakigaanyi ng'ate ye yabadde akubiriza olutuula luno'' Ssekikubo bwe yagambye.
Ssekikubo yagambye nti oba Pulezidenti Museveni ayagalwa nnyo abantu akirize abamwesimbako abawangulire waggulu sso ssi kutya kwesimbibwako.Yagambye nti ekibiina kirina Konsityusoni era ekiriza abaagala obukulembeze okwesimbibwako.
Ssekikubo ne babaka banne aba NRM abaali mu palamenti ey'omwenda abaakazibwako erya ‘'aba NRM bakiwagi'' okugeza Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire baagobwako mu kibiina kino olw'ebintu ebyekuusa ku kwogeraranga NRM amafukuule.