TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Uhuru yeevuze mu mmotoka ebitaala ne bimusiba

Uhuru yeevuze mu mmotoka ebitaala ne bimusiba

Added 26th February 2019

PULEZIDENTI Uhuru Kenyatta acamudde Bannakenya bwe yebbye ku bakuumi be ne yeevuga yekka mu mmotoka eriko nnamba za bulijjo ne yeetoolola ku nguudo ez’omu kibuga Nairobi nga bakira ayimirira ne ku bitaala n’agumiikiriza nga ba ddereeva abalala.

 Uhuru nga yeevuga mu mmotoka mu kibuga Nairobi

Uhuru nga yeevuga mu mmotoka mu kibuga Nairobi

Kino Pulezidenti Kenyatta yakikoze ku Ssande mu ssaawa nga 11:00 ez'akawungeezi bwe yeevuze mu mmotoka ey'ekika kya Mercedes G-Wagon eyabaddeko ennamba za bulijjo ne yeetooloola mu nguudo ez'enjawulo mu kibuga Nairobi nga talina bukuumi bwonna.

Ku ssaawa nga zigenda mu 12:00 ez'akawungeezi, Kenyatta yalabiddwaako ku bitaala ng'assizza ku ndabirwamu ey'omu maaso ey'emmotoka gye yabadde avuga n'ayogera n'omukazi ateeberezebwa okubeera masiikiini.

Ebitaala bwe byatadde, Kenyatta yavuze emmotoka n'ayolokera ekifo ekiyitibwa Masai Lodge era kigambibwa nti awo mmotoka ez'Obwapulezidenti n'abakuumi be we baamusanze ng'ali ku kulya ennyama enjokye eyitibwa Nyama choma n'akawunga (Ugali).

Guno mulundi gwakubiri nga Pulezidenti Kenyatta yeemulula ku bakuumi ng'ogwasooka gwabadde nga January 19, 2019, Uhuru bwe yebbye ku bakuumi be n'agenda ne Raila Odinga babiri bokka mu mmotoka ey'ekika kya Prado ne balambula omwalo gw'e Kisumu gye baasanga ne Munnayuganda Mike Mukula ne beevumba akafubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.