TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abanja omugagga Yanga obukadde 303 amuwawaabidde mu mbuga z'amateeka

Abanja omugagga Yanga obukadde 303 amuwawaabidde mu mbuga z'amateeka

Added 26th February 2019

WABALUSEEWO enkaayana ku ttaka eriri awaali awaali Total Nakivubo mu Kampala wakati ne bagimenyawo nga kati mu kiseera kino bazimbawo akeedi, eyali nnannyini kifo kino bw’akalambidde ng’ayagala omugagga Mansur Matovu amanyiddwa nga Yanga okumusasula ssente ze doola 82,500 mu za Uganda 303,105,000 nga zino ye bbaalansi ezaasigalayo bwe yamuguza ekifo kino.

 Omugagga Yanga

Omugagga Yanga

Bya ANNET NALUGWA

Omuwaabi De'Semaline incorporation Ltd asaba kkooti Enkulu etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala ku musango nnamba CS 82/2018 nti waakiri bayimirize buli kimu ekikolebwawo okutuusa nga bamusasudde ssente ze zonna kuba bwe batakikola ayinza obutafuna ssente ze.

Omuwaabi era nga yaakola nga bbuloka awawaabidde Mansur Matovu ne kkampuni ya DL properties Ltd ng'ayita mu bannamateeka be aba Crane associated advocates era mu mpaaba ye agamba nti nga October 20 2017 omuwaabi yakola endagaano y'okugula ekifo kino.

Ekisangibwa ku LRV 2458 Folio 15 poloti 2 ku Luguudo lw'e Namirembe mu Kampala wakati okuva ku Total Uganda Ltd. 

Wabula nga October 26 2017 nga wayise ennaku 6 zokka De'Semaline incorporation Ltd yakiguza Matovu ne kkampuni ya DL properties Ltd ku doola 7,000,000.

Mu  ndagaano eno abawawaabirwa balina okusasula De'Semaline incorporation Ltd 1,500,000 ate ezisigadde bazisasule Total Uganda Ltd era bakkiriziganya nti abawawaabirwa balina okufuna ekifo kino nga bamalirizza okusasula ssente zonna ne bazimalayo.

Nga January 22 2018 omuwaabi yabanja abawawaabirwa ssente ze wabula nga January 31 2018 baatwala ekifo poloti ye ku mpaka era ne bamugaana okuddamu okugirinnyamu wadde nga bbalansi we tebaamumuwa.

Agamba nti mu kiseera kino baazimbawo n'agamba nti nga October 1 2018 omuwaabi era yababanja ssente ze wabula tebaamuddamu.

Ayongerako nti Yanga yamenya endagaano gye baakola naye kuba baali baakujja mu kifo kino nga bamumazzeeyo ssente ze zonna.

Kati omuwaabi asaba waakiri bayimirize buli kimu ekikolebwawo okutuusa nga bamusasudde ssente ze doola 82,500, kkooti okulangirira nti Matovu ne DL properties Ltd baamenya endagaano gye baakola nabo ey'okumalayo ssente ze balyoke batwale ekifo ekyo n'okumusasula ebyo by'afiiriddwa.

Kino we kijjidde nga Mansoor Matovu Yanga ne Drake Lubega bakyalwana okweddiza ebizimbe ebiri ku ttaka lya Qualicel erikaayanirwa ne famire y'omugenzi Charles Muhangi.

Mu bugagga bwa Mansur Matovu amanyiddwa nga Yanga kuliko ebizimbe; Sun Set Arcade, Zainab Aziz ne Ivory Plaza ku Wilson, Namaganda Plaza e Nakasero, M.M Plaza ku Luwum, Zaina Textile Centre okumpi ne Cooper, Zai Plaza ku Luwum, Nabukeera Plaza e Nakivubo n'ebizimbe ebirala.

Alina n'ebizimbe mu Ndeeba n'e Lubaga era musuubuzi wa sipeeya ne pikipiki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...