TOP

Apangisizza abalombe batte mukama we

Added 28th February 2019

ABAZIGU abeebijambiya bayingiridde omusuubuzi wa mmotoka mu Kampala ne bamusogga ebiso ebyamuyuzizza olubuto.

BYA MARGRET ZALWANGO

Bino byabadde mu maka ga Denis Gebawaya 36, omusuubuzi wa mmotoka era omutuuze w'e Kibiri zooni A mu Makindye SsaAbagabo ku ssaawa 9:00 ez'ekiro.

Abatemu baayingidde mu maka ng'abaamu beebase. Gebawaya eyasangiddwa nga yaakava okufuna obujjanjabi obusookerwako era ng'atungiddwa ekiwundu ku lubuto yategeezezza nti zaabadde ssaawa 9:00 ng'ali mu kisenge kye ne yeekanga abasajja nga bamutunuzzaamu ekiso mu bukambwe.

Yakubye enduulu nga bw'ayita mukyala we wabula abatemu ne bamusirisa mangu n'abaabadde mu nju bonna.

Mukyala wa Gebawaya eyasangiddwa nga muzito yasirise era ne bamulagira adde mu kisenge kye naye kye yakoze olwo abazigu ne batandika okukuba bba.

Gebawaya yakutte akatebe akakube abatemu era wano omu ku bbo we yaggyiddeyo ekiso n'amutegeeza nti bo tebeetaaga kirala kyokka wabula bulamu bwe era n'amusogga ekiso mu lubuto.

Baakuttewo essimu ezaabadde okumpi ne bakuuliita nazo. Poliisi y'e Kibiri yayitiddwa n'ereeta embwa zaayo ezikonga olusu ezaanoonyezza abasajja bano ne basangibwa nga beekukumye mu kirombe nga n'abamu batandise okukuba bbulooka.

Bano poliisi beyagaanye okwatuukiriza amannya kuliko omukuumi w'awaka eyategeerekeseeko erya Wasswa nga kigambibwa yakolaganye n'abatemu.

Okusinziira ku butambi obwakwatiddwa kkamera mu maka gano, omukuumi ono yalese ekikomera nga takisibye era abatemu bwe bazze baayiseewo buyisi ne bayingira.

Akatambi era kalaga ng'abasajja bano bafuluma amangu ddala omukuumi n'ava ku ludda olulala olw'ekikomera n'ayingira munda. Kyokka Wasswa yeegaanye okubaako ne ky'amanyi ku bulumbaganyi buno.

Poliisi yabakutte ne batwalibwa ku poliisi y'e Kibiri ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...