TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basiimye pulezidenti Museveni olw'okwesiga Bannamukono n'abawa obukulu

Basiimye pulezidenti Museveni olw'okwesiga Bannamukono n'abawa obukulu

Added 28th February 2019

Abakulembeze b’ekibiina kya NRM n’abakulembera disitulikiti y’e Mukono basiimye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olw’okwesiga abaana enzaalwa ab’e Mukono n’abawa obukulembeze okumukwasizaako emirimu mu gavumenti eno.

Bino byayogeddwa ssentebe wa NRM mu disitulikiti y'e Mukono, Haji Twahir Ssebaggala ku Lwokusatu nga disitulikiti ekuza emyaka 33 egya gavumenti ya NRM ng'eri mu bukulembeze bw'eggwanga lino.

Ebijaguzo bino ebyasombodde abantu okuva okumpi n'ewala byabadde ku ssomero lya St. Joseph Mixed P/S e Naggalama.

Ssebaggala yanokoddeyo eyaliko omuduumizi w'eggye lya UPDF, Gen. Edward Katumba Wamala nga mu kiseera kino ye minisita omubeezi ow'eby'enguudo, omukyala akyasinze ekitiibwa mu magye mu ggwanga, Maj. General Proscovia Nalweyiso, minisita w'ekikula ky'abantu, abakozi n'ekulaakulana y'abantu, Janat Balunzi Mukwaya ne minisita omubeezi ow'amazzi Ronald Kibuule.

  mu bigezo bya iniya eyoomukaaga ebifulimizibwa olwaleero biraga ngabayizi baabikoze bulungiko httpswwwbukeddecougbukeddeamawulire1495000ebyas6bifulumaleero EBYAVA mu bigezo bya Siniya eyoomukaaga ebifulimizibwa olwaleero biraga ng'abayizi baabikoze bulungiko. 

Abalala kuliko ba RDC ab'enjawulo okuli Fatuma Ndisaba Nabitaka omumyuka ow'e Butebo, Lillian Nakaweesi omumyuka w'e Mbale, Yahaya Were omumyuka w'e Tororo n'abalala bangi.

Ssebaggala yategeezezza nti nga NRM baliko enkulaakulana nnamutayiika gye batuusizza ku ggwanga lino emyaka 33 gye bamaze mu buyinza omuli mu bisaawe eby'enjawulo gamba ng'eby'enjigiriza, eby'obulamu, enguudo, amazzi amayonjo agabunyisiddwa mu disitulikiti kumpi zonna, amasannyalaze, ebibuga ebizimbiddwa ne bikulaakulana nga kuno mulimu; Kampala, Wakiso, Entebe, Mukono, Jinja, Mbarara, Fort Portal n'ebirala bingi.

 atumba amala ngakwasa abamu ku bakulembeze ba ukono abaweereddwa amabaluwa agabasiima Katumba Wamala ng'akwasa abamu ku bakulembeze ba Mukono abaweereddwa amabaluwa agabasiima.

 

Ye Gen. Katumba Wamala yalabudde Bannayuganda okwewala okubuguumirizibwa bannakigwanyizi ababalimbalimba nga beenoonyeza okubaggya ku mulamwa nga babalaga nga gavumenti ya NRM bw'erudde mu buyinza n'agamba nti omuvubuka ow'emyaka 33 aba atandika butandisi okwekulaakulanya nga n'olwekyo abagamba nti baludde mu buyinza bali ku byabwe.

Katumba era yalangidde Bannamukono obwangalobunani n'obwassemugayaavu obubalemesezza okukola emirimu gamba ng'okulunda oba okulima nga balinaanye ekibuga Kampala omuli abantu abatalima wadde okulunda nga balindiridde kugula buli kimu naye ng'eby'embi abali mu disitulikiti nga Soroti, Mbarara be balima n'okulunda ne batwala ebintu e Kampala ne beefunira ensimbi ng'ab'e Mukono abali akinnya n'empindi batunula butunuzi na kuzinga mikono.

 atumba amala ngayogera ku ddyo ye  amwine Katumba Wamala ng'ayogera, ku ddyo ye RDC Bamwine.

Ye RDC w'e Mukono, Fred Bamwine yalabudde abakozi ba gavumenti okuviira ddala ku mukama waabwe, George Ntulume okuva mu muzannyo okukolera abantu n'agamba nti mu nsisinkano gye baabaddemu ng aba RDC ne pulezidenti, yabawadde nsalassale ya myaka 2 gino okukolera abantu buli ekibasuza nga batunula basobole n'okubayamba bave mu bwavu.

"Omukozi wa gavumenti abantu gwe banaasongamu nti yaalemesezza enkulaakulana, ggwe ojjanga osiibudde kuba ebinaddirira aggya kubinyumiza ne ku bazzukulu. Awulira nga tayagala kukola lekulira ng'emitawaana teginnakulumba!" Bamwine bwe yalabudde.

 kuva ku ddyo  amwine en atumba ssentebe senyonga nabakulembeze abalala e aggalama ku wokusatu Okuva ku ddyo, RDC Bamwine, Gen. Katumba, ssentebe Ssenyonga n'abakulembeze abalala e Naggalama ku Lwokusatu.

Ye ssentebe wa disitulikiti, Andrew Ssenyonga ne banne baawomye olukalala lwa bantu 100 abakoledde ennyo disitulikiti y'e Mukono okusobola okutuuka ku ddaala w'eyimiridde.

Mu bano mulimu abakulembeze abazze bakulembera Mukono n'abaliwo kati, bannaddiini, abakozi ba gavumenti, abagagga abayimiriddeko enkulaakulana ya disitulikiti n'ebiti by'abantu ebirala.

 kuva ku ddyo  amwine en atumba ne ssentebe senyonga e aggalama ku wokusatu Okuva ku ddyo, RDC Bamwine, Gen. Katumba ne ssentebe Ssenyonga e Naggalama ku Lwokusatu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...