TOP

Abaakosebwa omugga Mayanja bayise ebya S6

Added 28th February 2019

Abayizi bano ababadde basomera mu Mende Kalema Memorial School mu disitulikiti y’e Wakiso baakosebwa omugga Mayanja mu November omwaka oguwedde mu kiseera we baakolera ebibuuzo.

 abamu ku bayizi ba Mende -Kalema Memorial School abaakoze obulungi

abamu ku bayizi ba Mende -Kalema Memorial School abaakoze obulungi

ABAYIZI abaakosebwa omugga Mayanja mu disitulikiti y'e Wakiso bayise ebibuuzo bya S6 ne beebaza Katonda olw'okubatuusa ku kyengera kino.

Abayizi bano ababadde basomera mu Mende Kalema Memorial School mu disitulikiti y'e Wakiso baakosebwa omugga Mayanja mu November omwaka oguwedde mu kiseera we baakolera ebibuuzo.

Omugga Mayanja gwawaguza ne gusalamu ekkubo abayizi ne balemererwa okutuuka ku ssomero.

Shamirah Nabbanja omu ku bayizi abaayise obulungi yategezezza nti baasanga obuzibu okutuuka ku ssomero okukola ebibuuzo olw'ekkubo lye baali bakozesa okutuuka mu budde amazzi bwe gaali galizibye.

Yategeezezza nti baakozesa amakubo g'omu byalo ewala nga baasimbulanga ku ssaawa 10:00 ng'obudde bukya ne batambula okugenda ku ssomero basobole okutuuka mu budde bwe balina okukoleramu ebibuuzo.

Kyokka baatuukanga bakooye naye kino tekyabalobedde kukola bulungi.

Baategeezezza nti baakola ebibuuzo mu nnaku kubanga abamu baafiirwa abantu baabwe abaatwalibwa amazzi wabula beebaza Katonda eyabasobozesezza okukola obulungi.

Avunaanyizibwa ku byenjigiriza ku ssomero lino, Ggayi Musa yategeezezza nti baatuuza abayizi 38 era bonna baayise bulungi.

Abamu ku bayizi abaayise ye; Justine Nakiyingi eyafunye 14 mu GEL/sub Maths , Shamirah Nabbanja eyafunye 14 mu BCM/ICT, Sandra Nabaleke eyafunye 10 mu DEG/sub Maths ne Richard Kiyingi eyafunye 13 mu BCM/ICT.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...