TOP

Ababbisa kalifoomu mu takisi babakutte

Added 1st March 2019

ABA takisi abagambibwa okukuba omusuubuzi kalifoomu ne bamubbako ssente 4,500,000/- poliisi ebakutte ne berumiriza.

 Takisi nnamba UBB 509M mwe bagambibwa okubbira. Mu katono, Ategeka (ku kkono) ne Muyimbwa nga bali ku poliisi.

Takisi nnamba UBB 509M mwe bagambibwa okubbira. Mu katono, Ategeka (ku kkono) ne Muyimbwa nga bali ku poliisi.

Nga February 22, 2019, Alex Kyambadde omusuubuzi w'ente mu lufula y'oku Kaleerwe yalinnya takisi nnamba UBB 509M ku siteegi ya Kibe ku Kaleerwe ng'edda Busega gy'agamba nti mwe baamukubira kalifoomu oluvannyuma ne bamubba ssente 4,500,000/- ne badduka.

Yaggulawo omusango ku poliisi ya Kibe ku fayiro nnamba SD:25/22/02/2019.

Abaserikale baatandika omuyiggo okutuusa ku Lwokubiri bwe baagikwatidde mu kifo ky'ekimu Kyambadde we yagirinnyira.

Kondakita John Ategeka 23, ne Sulaiman Muyimbwa 27, ddereeva baakwatiddwa.

Kyambadde yategeezezza nti yali agenda Kasese kusuubula nte n'alinnya takisi edda e Busega yeeyongereyo.

Yagambye nti yali munda n'awulira ng'alina kammunguluze n'atakifaako wabula yafuluma atagala ng'omuntu atamidde wano we yategeerera nti bamubbye.

Olw'okuba yalimu akategeera yasobola okukwata nnamba puleeti n'agiwa poliisi. "Eyo takisi yennyini mwe mwali abanziba sirina kye mpaayiriza.

Njagala ssente zange kuba bankuba kalifoomu. Oyo omuvubuka omunene ye yali kondakita saagala yeegaane " Kyambadde bwe yategeezezza.

Muyimbwa yategeezezza nti takisi eno yamukwasibwa taata we Yunusu Kasenge okugivuga wabula olunaku lwe baagamba nti babbiramu omusuubuzi yali agigabye kibaluwa era teyagirimu.

Yagasseeko nti ebbanga mmotoka ly'emaze ku luguudo lwa Northern tawulirangako nti yabbye abasaabaze nga kirabika Kyambadde alina ensonga ze ndala.

Ategeka yabyegaanye, wabula ng'aba takisi banne abakolera ku siteegi ya Kibe baategeezezza nti mmotoka eno nga bamaze okugiroopa nti yabbye omusaabaze ebadde teddanga ku siteegi okutuusa ku Lwokubiri lwe yakomyewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...