TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnansi wa South Afrika afiiridde mu wooteeri mu Kampala

Munnansi wa South Afrika afiiridde mu wooteeri mu Kampala

Added 1st March 2019

ABAKOZI ku wooteeri ya Golden Tulip mu Kampala byabaweddeko ne basoberwa omusajja eyayingidde wooteeri nga mulamu ku ssaawa 6:00 ez’emisana bwe baamusanze ng’afudde ku ssaawa 3:00 ez’ekiro.

Fred Steinberg Johnnes

Fred Steinberg Johnnes

Fred Steinberg Johnnes 54, munnansi wa South Afrika, yatuuse mu Uganda ku Lwokubiri ku ssaawa 2:00 ez'oku makya. Yajjidde ku nnyonyi ya kkampuni ya Fly Emirates.

Okujja mu Uganda, yasoose Kenya mu kibuga Nairobi gye yabadde ku mirimu gya kkampuni oluvannyuma n'ajja mu Uganda.

Yabadde atambulira ku paasipooti nnamba M00202750. Steinberg, yatuuse ku Golden Tulip Hotel ku Kyaddondo Road ku ssaawa 6:00 ez'emisana n'ayingira ekisenge nnamba 602 kye baabadde baamutegekedde.

Ku ssaawa 3:00 ez'ekiro, muwala we yakubye essimu ku wooteeri okuva e South Afrika ng'abasaba bamuyunge ku kitaawe kubanga yabadde akuba essimu ye ey'omu ngalo nga tagikwata.

Omukozi eyabadde awatuukira abagenyi eyategeerekeseeko erya Kasozi, yakubye essimu mu kisenge nnamba 602 Steinberg kye yabadde apangisizza nga teri akwata.

Baalinzeeko okutuusa ku ssaawa ssatu n'eddakiika nga 50 ne bagenda mu kisenge bamutegeeze nti muwala we yabadde yeetaaga okwogerako naye ku ssimu.

Bagguddewo ekisenge nga taliimu ne bayita nga tebawulira kanyego. Ebintu bye byonna okwabadde amasimu, Laptop, wallet, essaawa n'ensawo ze, byabadde ku mmeeza abakozi baagenze okukebera mu kinaabiro, baamusanze yafiiridde mu bbaafu.

Omukozi omulala eyategeerekeseeko erya Sarah, yamukebedde entunnunsi n'akizuula nti yabadde yafudde dda kwe kukubira poliisi ya CPS.

Steinberg, y'abadde akulira emirimu gya kkampuni ya Commercial Refrigeration Services (CRS) mu Afrika.

CRS, kkampuni ekola firiigi ekitebe kyayo ekikulu, kiri mu Johannesburg e South Afrika.

Poliisi n'ekitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO, baafunye obutambi bwa kkamera za wooteeri obwakutte buli kimu ekyabaddewo nga Steinberg ayingira wooteeri okwetegereza oba nga waliwo omupango gwonna ogwakoleddwa.

Omulambo gwa Steinberg, gwaggyiddwa ku wooteeri ku ssaawa 7:00 ez'ekiro ne gutwalibwa ku ggwanika e Mulago okwekebeggyebwa.

Omu ku baserikale abali mu kunoonyereza ku nfa ya Steinberg yategeezezza nti, baasanze eddagala eriwerako mu kisenge kye erisuubirwa okuba nga lye lyavuddeko obuzibu.

Akulira ebyokwerinda ku wooteeri eno eyategeerekeseeko erya Isaac, yagaanye okwogera ku by'okufa kwa Steinberg n'agamba nti, ensonga ziri mu mikono gya poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, bwe baatuuse ku wooteeri, baggye sitatimenti ku baabaddewo okuli ne maneja wa wooteeri oluvannyuma omulambo ne bagutwala mu ggwanika okugwekebejja.

Yagasseeko nti, bateebereza nti omugenzi yafudde kikutuko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Diego Maradona

Diego Maradona eyaliko kafu...

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde....

Akakiiko k'eddembe ly'obunt...

AKAKIIKO k’eddembe ly’obuntu kavumiridde ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Abamu ku bazannyi ba komedi.

Kapere bamugobye mu kibiina...

TAATA Sam yeegasse ku Ssenga Ssebanga ne bagoba Kapere nga bamulanga kwagala kutabula kibiina kyabwe. Mu kaweefube...

Abaserikale nga bakwata Bobi Wine lwe yeewandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti.

Poliisi eremesezza Bobi Win...

POLIISI e Kibaale eremesezza Bobi Wine okukuba olukung'aana mu kifo kye yategese ne bamutegeeza nti takkirizibwa...

Sheikh Muzaata ali mu ddwaaliro.

Mutabani wa Muzaata atabuki...

MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba...