
Akakiiko ka palamenti akalondoola enzirukana y'ebitongole bya gavumenti COSASE akabadde kakulirwa Abdu Katuntu (Bugweri) ke kabadde kabuuliriza ku nsonga z'okuggalwa kwa bbanka.
Ng'oggyeko Katuntu ababaka abalala abasongeddwamu ennwe ku nsonga eno kuliko; Anita Among, Odonga Otto ne Elijah Okupa.
Mu bbaluwa eriko ennaku z'omwezi Febuary 9, Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja agamba nti yafuna okwemulugunya nti abamu ku babaka ku kakiiko ka COSASE baasiwuka empisa ne balya enguzi.
Omwogezi wa ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti, Ali Munira, yakakasizza bino n'agamba nti mukama we yawandiise ebbaluwa eri akulira ekitongole kya ISO Kaka Bagyenda ng'amugamba okubuuliriza ku nsonga eno.
N'agamba nti ofiisi ya Kaliisoliiso terina buyinza kubuuliriza ku bitongole bitali bya gavumenti nga ISO y'erina okukikola.
‘'Ofiisi yange efunye okwemulugunya ku bammemba b'akakiiko ka COSASE. Kigambibwa nti ssentebe wa COSASE Abdu Katuntu , omumyuka we Anita Among mikwano gya Sudhir eyali nnannyini Crane Bank era baamusisinkananga, wamu ne mutabani we Rajiv Rupereria ne bannamateeka baabwe mu kiseera ky'okubuuliriza kuno.
Abalala abasongeddwamu ennwe kuliko; Elijah Okupa ne Odonga Otto'' ebbaluwa bw'egamba.
‘'Bano bagambibwa nti baawebwa ssente okuva ewa Rupereria era yandiba ensonga eyabalemeza ku kakiiko kano.
Omubaka Katuntu yali omu ku babanjibwa bbanka ya Global Trust Bank we yaggalirwa mu 2012 ng'abanjibwa obukadde nga 180 kyatanyegangako ng'ate kigambibwa amabanja ge gasuula bbanka eno'' bwe yagambye.