TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukwago asoomoozezza latif ayagala okwesimbawo ku kifo kya Loodi Meeya

Lukwago asoomoozezza latif ayagala okwesimbawo ku kifo kya Loodi Meeya

Added 2nd March 2019

Lukwago asoomoozezza latif ayagala okwesimbawo ku kifo kya Loodi Meeya

 Latif Ssebaggala, Loodi Meeya Lukwago (wakati) ne Kato Lubwama (ku ddyo).

Latif Ssebaggala, Loodi Meeya Lukwago (wakati) ne Kato Lubwama (ku ddyo).

ABOOLUDDA oluvuganya Gavumenti bongedde okwetemamu oluvannyuma lwa Latif Ssebaggala okulangirira nga bw'agenda okuvuganya Erias Lukwago ku bwa Loodi Meeya.

Enkambi ya Latif n'eya Lukwago kati zombi zituula bufoofofo nga basala amagezi ku ngeri buli nkambi gy'enanaafuyaamu ginnaayo okusobola okuwangula ekifo kya Loodi Meeya mu kulonda okusuubirwa okubeerawo mu 2021.

Omubaka Latif Ssebaggala Ssengendo (Kawempe North) yalangiridde nga bw'atagenda kuddayo kuvuganya ku kifo kya bubaka, wabula agenda ku kya Loodi Meeya.

Lukwago ne Latif baludde nga batambulira wamu mu byobufuzi era ne mu kalulu akawedde, baayimiriranga ku kadaala kamu ne basaba obululu; wabula ku mulundi guno buli omu yeetegese okwolekeza munne ebiso era bangi bakyebuuza ekyabatabudde Latif atuuke okusalawo okulumba Lukwago amuvuganye.

Mu kalulu ka 2016, Lukwago yawaguka ku DP n'akola ekisinde ekikye kye yatuuma TJ (The Truth and Justice) era mu baamwegattako kwaliko; Latif Ssebaggala, Kato Lubwama n'abalala wabula kati baawudde era buli omu ali mu kakuyege.

Lukwago bwe yabadde ku mukolo e Kawempe kwe yakwasirizza aba LC I sitampu z'ebyalo byabwe ku ntandikwa y'omwezi guno, yagambye nti tamanyi gwe yayogeddeko nga muganda we (Latif) ky'ayagaza kafo ka Loodi Meeya kubanga baakasosonkolamu ebintu bingi (obuyinza n'obuvunaanyizibwa) ate ne bye baali baleseemu baateekawo bannabyabufuzi ababirwanyisa ne banafuya ke yayise 'akafo' k'Obwaloodi Meeya.

Bwe yabadde ku mukolo omulala e Makindye, Lukwago yagambye nti awulira abali mu kakuyege ku kifo kya Loodi Meeya, naye balina okukimanya nti ekifo kirimu omuntu.

LATIF SSEBAGGALA ALANGIRIRA

Yali yaakamala okwogera ebyo, Latif Ssebaggala n'alangirira nti ayagala entebe y'Obwaloodi meeya.

Latif yaweze nti: Kkiriza oba gaana, nze Loodi Meeya addako 2021 'Insha-Allah'. Waliwo abaabadde bawa Latif amagezi nti mu kifo ky'okukoonagana ne Lukwago, waakiri awummule ebyobufuzi kyokka kigambibwa nti ab'enkambi ya Latif kino baakiwakanyizza nga bagamba nti mu 2021 omuntu waabwe agenda kuba alina emyaka 53 nga tekibeera kya bwenkanya kuwummulira byabufuzi ku myaka egyo.

Latif yategeezezza Bukedde nti, azze okuvuganya okufuuka Loodi Meeya nga yeetegese bulungi era obukulembeze bwe buli wansi w'omulamwa ogugamba nti; 'Ekibuga kyaffe y'endabirwamu yaffe, Tuzze tukola'.

Yagambye nti agenda kuvuganyiza mu kisinde kya 'People Power' ekikulemberwa omubaka Robert Kyagulanyi 'Bobi Wine' (Kyaddondo East) nti mu kuvuganya kwe ajjidde mu kifaananyi eky'oludda oluvuganya gavumenti kye yayise 'wider opposition' ekigatta abo bonna abalina endowooza y'okukyusa Gavumenti ya NRM

. Yagambye nti ekimuleese kwe kulaba ng'alwanirira obuyinza budde wansi mu bantu bonna babeere nga beetabamu n'okukolera awamu ku lw'obulungi bw'ekibuga.

Obuyinza obwaggyibwa ku Munisipaali ne Divizoni ayagala buddeyo Bameeya e Nakawa, Makindye, Kawempe, Kampala Central ne Lubaga babeere nga basobola okwekolera ku bizibu ebisinga obungi mu bitundu byabwe baleme kulinda kitebe kya KCCA ku City Hall kubasalirawo. Aluubirira okukendeeza emisolo, okulwanyisa ekizibu kya kasasiro ng'akolagana ne bamusigansimbi nga bamukolamu ebijimusa n'amasannyalaze n'okutumbula obuyonjo.

EBYATABUDDE LUKWAGO NE LATIF SSEBAGGALA

1 Ssebaggala bwe yali anoonya akalulu ka 2016 mu Kawempe North, yalayira mu maaso g'abalonzi nti bwe bamulonda tagenda kuddamu kwesimbawo. Yali abasaba kisanja kyakuna era ne baakimuwa, wabula akalulu kaamukaluubiriramu okusinga ebisanja ebirala by'azze awangula.

2 Kigambibwa nti mu bibalo bya Latif yali ategese kujja ku bwa Loodi Meeya era ng'asuubira nti ekisanja ekijja Lukwago ajja kuba aseeseetuuse ng'alumbye ntebe ya Pulezidenti.

Wabula kaweefube w'okumatiza Lukwago avuganye Obwapulezidenti yagwa butaka nti era ab'enkambi ya Latif abamu ne banyiigira Lukwago olwa kye baayita okulemera mu nkwawa za Dr. Kizza Besigye ate nga bbo bamulaba ng'eyatuuka edda okuvuganya ku ntebe ennene.

Okuyingirawo kwa Bobi Wine kwayongedde okukalubya ekya Lukwago okulowooza ku bwa Pulezidenti, so ate nga Latif ye yamalirira dda okuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya ekirimu Lukwago.

3 Wadde nga Lukwago ne Latif Sebaggala bonna ba ludda oluvuganya Gavumenti, kyokka engeri gye balabamu ebintu eyawukanira ddala. Ab'enkambi ya Latif balaba Lukwago ng'omukulembeze asiba ekintu n'atajjulula so ng'ate bbo balowooza nti mu bukulembeze olina okujjulukuka singa okizuula nti kiyamba okukyusa embeera z'abantu b'okulembera.

4 Emirundi mingi Latif abadde anenya Lukwago ne mu nkiiko ezimu nga bwasussizza okulwana entalo ezitagasa Bannakampala. Kyokka ye Lukwago ng'ayanukula nti tayinza kugumiikiriza nkola yonna etatambulira mu nfuga y'amateeka. 5 Olutalo lwa Lukwago n'obukulembeze bwa DP obukulirwa Nobert Mao DP nakyo kitunuuliddwa ng'ekimu ku bireeseewo olukonko.

Kigambibwa nti wabaddewo okwogeraganya wakati w'abakulu mu DP n'ab'enkambi ya Latif nga baagala asimbe emabega wa Sulaiman Kidandala ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North era nga nabo basuubizza okuwa Latif obuwagizi bwonna obwetaagisa ku kifo kya Loodi Meeya.

Mu nteekateeka eyo, Latif aba atunuulidde okufuna obuwagizi bw'aba DP n'abeekisinde kya 'People Power' ate nga Lukwago asuubira okufuna amaanyi okuva mu nkambi ya Dr. Kizza Besigye. Mu kalulu ka 2016, eyali omuwanika wa DP (kati omugenzi) Issa Kikungwe yasalawo okuvuganya Lukwago era aba DP ne bamuwa kaadi y'ekibiina nga bagamba nti ekibiina eky'amaanyi mu Kampala tekiyinza butasimbawo muntu ate nga gwe batwala ng'owaabwe tagenze kusaba bendera ya kibiina era ne ku luno batunuuliddwa ng'abayinza okuwagira omuntu omulala anaavuganya Lukwago.

Kiteeberezebwa nti ekisinde kya 'People Power' bwe kineeyongera amaanyi ne kisukkuluma ku Besigye, olwo Latif ajja kuba n'emikisa egiwangula; wabula Besigye bw'anaaba y'asinga amaanyi akalulu ka 2021 we kanaatuukira, Lukwago aba alina emikisa mingi egiddamu okuwangula ekifo ekyo. Kyokka abooludda oluvuganya Gavumenti abamu batya nti okuvuganya wakati wa Latif ne Lukwago kiyinza okuwa Godfrey Nyakana (aba NRM gwe baagala okuleeta) omwagaanya okubayitako bombi.

Nyakana nga ye ssentebe wa NRM mu Kampala yatandise dda kakuyege era yagambye nti, Latif ne Lukwago bombi talina gw'atya era n'awera nti "zigenda kwabika emipiira mu 2021" 6 Abamu bagamba nti famire ya Bassebaggala erina obutali bumativu ku ngeri Lukwago gy'azze akwatamu ensonga era balowooza nti mu ba famire mulimu abaayongera okunyweza ekirowoozo Latif kye yalina eky'okuvuganya ku kifo mukulu we Haji Nasser Ntege Ssebaggala (Seya) kye yalimu eky'okukulembera Kampala.

Akakuubagano Seya ke yalina ne Lukwago n'abamu ku bali mu famire okuli ne Nabillah Naggayi Ssempala (eyafumbirwa muganda wa Latif) bagamba nti tebiyinza kubuusibwa maaso mu kuttunka kuno. Abamu ku ba famire bakissa ku Lukwago nti azze abalwanyisa mu byobufuzi.

LATIF ALAZE EKIMWESIMBIZZA KU LUKWAGO

Ssebaggala abadde omubaka wa Palamenti okuva mu 2001 yategeezezza nti obukulembeze bwe bukkiririza mu kuteesa n'okuwa abantu abalala ekitiibwa era abalonzi kye babeera bamusuubiramu.

Eky'okuba ng'agenda kuvuganya Lukwago bwe bali ku ludda oluvuganya, Latif yagambye nti tekirina mutawaana kuba n'e Kawempe gy'abadde akiikirira okumala ekiseera, abadde avuganya n'abooludda oluvuganya. "Ekikulu Bannakampala kye balina okumanya, anaawangula ekifo kya Loodi Meeya tayinza kubeera wa NRM.

Okujja kwange kugenda kuwa abalonzi omukisa okulondako omuntu asinga okubeera n'enteekateeka ennungi ate ng'ava ku ludda oluvuganya Gavumenti. Seya yawagidde ekya mutoowe okusalawo okwesimbawo n'agamba nti alina ebisaanyizo byonna ebimufuula Loodi Meeya.

Yagambye nti obutafaanana ng'abantu abamu abazze mu kibuga okukoleramu ebyobufuzi, Latif yazaalibwa mu kibuga mu nnyumba ey'essubi, n'akolera mu butale n'ebitundu by'enzigotta n'asobola okufuuka ow'amaanyi.

Ebizibu bya Bannakampala teyeetaaga kubimubuulira kuba bibadde kitundu ku bulamu bwe era mw'ayise. Yannyonnyodde nti ekizibu kya Kampala mu kiseera kino be bakulembeze abalemeddwa okukkiriza nti Gavumenti ya wakati y'ekizivunaanyizibwako era tosobola kukikyusa nga tokolagana na Gavumenti. Kyokka abali mu nkambi ya Lukwago nabo bawera nti Omuloodi akyaliwo era nti omuntu alowoozo nti asobola okumuggya e Kampala ali mu birooto byennyini.

'LATIF AGENDE KU BWA MUFTI'

Makolo Kavuma (FDC) yagambye nti Latif yamwewuunyisizza nnyo okwegwanyiza obwa Loodi Meeya ate ye ng'amulabamu busobozi bumufuula Mufti wa Uganda kuba emyaka gya Sheikh Shaban Mubajje girabika gigenderera.

Yagambye nti Latif yasooka kubeera kansala n'oluvannyuma n'aweereza ng'omubaka wa Palamenti okumala emyaka 20 era nga mu kiseera kye kimu ye Imaam wa Palamenti alaba ng'abeera agwanidde Obwamufti bwa Uganda. Kyokka ate Luba Kyoya omukubi w'amasimu ku leediyo yagambye nti yayingidde dda enkambi ya Latif kubanga akkiririza mu People Power eya Bobi Wine gy'agamba nti Lukwago yeeyoleka dda nti tagiwagira.

Kato Lubwama (Lubaga South) yagambye nti mu Kampala balina ehhombo eya buli omu okunyweza ky'alina n'agamba nti talaba nsonga lwaki Latif tasigala gy'abadde.

Kyokka bwe yabuuziddwa gw'ajja okuwagira yagambye nti talina gw'awagira kuba ebizibu bye biri Lubaga South era tayagala muntu amuyingirira. Lukwago bwe yatuukiriddwa yagaanye okwogera ku nsonga zino.

Abooludda oluvuganya bongedde okwetemamu, ng'abamu bali ku Lukwago ate abalala bali ku Latif, kyokka waliwo bangi abatannasalawo abalinze okwetegereza embeera bw'enaabeera ng'akalulu kasembedde.

Enkambi ya Lukwago erina essuubi mu bannabyabufuzi abawerako okuwagira omuntu waabwe era mu be basuubira mulimu Dr. Kizza Besigye n'abawagizi ba FDC, Betty Nambooze (Mukono Munisipaali), Moses Kasibante (Lubaga North), Allan Sewanyana (Makindye West), Mubarak Munyagwa (Kawempe South) n'abalala.

Ate enkambi ya Latif erina essuubi okufuna obuwagizi okuva ewa Bobi Wine n'aba People Power, kw'ossa bameeya abamu mu Munisipaali za Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo ng'annyonnyola.

Ab'e Bamunanika beeraliikir...

FAMIRE ez'enjawulo mu Bamunanika bali mu kwekubagiza olwa minisita Dr. John C. Muyingo okuwangulwa mu kalulu ekimulemesezza...

Aba bodaboda aba NRM nga bajaganya olwa Museveni okuwangula akalulu.

Aba bodaboda e Lubaga bajag...

ABA bodaboda mu Lubaga nga bawagizi ba NRM, baayisizza ebivvulu mu Lubaga nga bajaganya olwa ssentebe w'ekibiina...

Ssaabalabirizi Kazimba ng’abuulira mu kusaba eggulo.

Abaawanguddwa temwekwasa ba...

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye baminisita ba Pulezidenti Museveni abaawanguddwa...

Ababaka ba NUP abaalondeddwa; Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North (ku kkono), Seggona owa Busiro East,Mathias Mpuuga ne Abdala Kiwanuka (ku ddyo) bwe baabadde bagenda okwogerako ne bannamawulire.

Aba NUP bafunye obujulizi b...

ABAMU ku bakulembeze ba NUP n'ababaka abaawangudde akalulu bategeezezza nga bwe balina obujulizi mu bitundu byabwe...

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...