TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekiragiro ky'okuwera walagi w'obuveera kisattizza abantu

Ekiragiro ky'okuwera walagi w'obuveera kisattizza abantu

Added 3rd March 2019

Ekiragiro ky'okuwera walagi w'obuveera kisattizza abantu

 Minisita Ameliua Kyambadde

Minisita Ameliua Kyambadde

ABATUNDA omwenge gw'obuveera n'abagunywa bali mu kasattiro oluvannyuma lwa Gavumenti okuyisa ekiragiro ekiguwera. Minisita w'ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde ye yayisizza ekiragiro kino n'alambika nti okukola omwenge gw'obuveera kulina okukoma nga March 31, omwaka guno era nga kati abagukola basigazzaayo ennaku 27 zokka.

Ekiwandiiko kya Minisita kyalambise nti okutunda omwenge gw'obuveera kukoma May 30, era balina emyezi egitakyawera esatu okukoma okutunda walagi ow'obuveera.

Amelia Kyambadde yagambye nti kino bakikoze nga beesigama ku kyasalwawo olukiiko lwa Baminisita mu 2017 nga beesigama ku bulabe obuvudde ku mwenge gw'obuveera gwe bagamba nti gwanguyira nnyo abantu ate nga gwa layisi ekivaako okugunywa mu ngeri ey'obulagajjavu era abagunywedde ne bavaako obubenje naddala obwa bodaboda, kw'ossa okukosa omujiji gw'abavubuka abandibadde bakola emirimu egibagasa kyokka n'obasanga nga bali ku walagi w'obuveera mu ssaawa z'okukola.

Baataddewo akakiiko ak'enjawulo okulondoola ekiragiro kino okukakasa nti kissibwa mu nkola ng'ennaku ezo tezinnayita. Akakiiko kano kaliko abeebitongole ebiwerako okuli: Minisitule y'obusuubuzi, Minisitule y'ebyensimbi, ekitongole ekisolooza emisolo (URA), ekitongole ekirondoola omutindo (UNBS), Minisitule y'ebyobulamu, ekibiina ekigatta bannamakolero (UMA) wamu n'abeekibiina ekigatta amakampuni agakola omwenge ekya Uganda Alchol Manufacturers Association.

ABAKOLA OMWENGE BASATTIRA Abamu ku baddukanya kkampuni ezikola omwenge guno baatandikiddewo okuddukira mu ofiisi ez'enjawulo okuperereza abakungu mu gavumenti bakyuse mu kiragiro kino nga bagamba nti kigenda kubakosa nnyo mu by'ensimbi n'okufiirizibwa (okukola loosi) kubanga nti abamu basangiddwa ng'ebikozesebwa okufulumya walagi w'obuveera baabigula mu bungi era abamu nga balina bye banaakozesa omwaka guno gwonna.

Abamu baasabye ekiragiro kiveewo, kyokka abalala baagala bongerwe obudde nti bye baasuubula babikozese biggweewo baleme kufiirwa nnyo. Okusinziira ku Amelia, baasooka kusisinkana abo bonna abali mu mulimu guno nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Alcohol Manufacturers Association nti ne batuuka ku kukkaanya nti obuveera buwerwe, omwenge gwonna gubeere gwa macupa.

Yagambye nti abakola walagi n'abamunywa tebeetaaga kusattira kubanga ekikoleddwa kiyamba bbo okwongera ku mutindo gwa walagi gwe bakola ne gwe banywa, gubeere gwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...