TOP

Bazingizza ababbi ne batta omu

Added 3rd March 2019

Bazingizza ababbi ne batta omu

 Nassaazi n'omwana be baabadde bagenda okutta.

Nassaazi n'omwana be baabadde bagenda okutta.

ABATUUZE ku kyalo ky'e Jjokolera mu ggombolola y'e Nangabo mu disitulikiti y'e Wakiso bataayizza ababbi abaayingiridde amaka g'omutuuze omu ne babakuba era be babatta wabula omu n'asimattuka era n'adduka.

Doreen Nassaazi 19 omukozi mu maka ga Musitafah Businga omukozi mu kkampuni ekola enguudo eya Energo, yasimattuse okuttibwa ababbi bano n'omwana Hassan Mugisha 4 oluvannyuma ly'okuyingirirwa abazigu bano ne babasaba ssente nga tebazirina olwo ne baagala okubattira mu kisenge kya mukama we.

NASSAAZI ANNYONNYOLA "Essaawa zaabadde 5:00 ku makya ku Lwokutaano abasajja babiri ne bajja awaka nga nteekateeka ekyemisana.

Olwabadde baagenze butereevu mu nnyumba ne mbabuuza kye baagala ne bantegeeza nti, baagala mazzi ga kunywa. Nabagambye bafulume ebweru ngabaleetere ne bagaana okufuluma. Nayingidde mu nnyumba okubawa ne bankwata ne bankanyuga mu ntebe n'omwana gwe nabadde naye.

Bahhambye nti, mubeerawo basatu abalala baliwa ne mbagamba nti tebaliiwo. Baatandise okunkanda ssente ne bahhamba nti singa sibalagirira we ziri bagenda kunzita n'omwana. Nakutte eccupa ne ngibakuba ne batiiriika omusaayi nabo ne bava mu mbeera ne batandika okunkuba buli we basanze.

Baabadde n'ennyondo n'emiguwa era bwe baanoonyezza ssente ne zibabula bantutte mu kisenge kya taata ne bansiba akandooya ne mu bulago wakati mu kulaajana naye nga sirina ayamba." NASSAAZI N'OMWANA BASIMATTUKA Ebadde ebula eddakiika nga 15 okuwera essaawa 7:00 ez'omu ttuntu, omuvuzi wa bodaboda ayitibwa Ssemata yatuuse awaka ng'abadde atumiddwa nnannyini maka.

Ssemata bwe yayise nga tewali ayitaba kwe kuggulawo oluggi ateekeye ebintu bye baamutisse naye olwabandudde oluggi abazigu bano ne bamukuba ennyondo ku mutwe n'okumusika okumuzza mu nnyumba kyokka n'abasinza amaanyi n'abeesimattulako n'adduka nga bw'akuba enduulu esombodde abatuuze n'abazigu bwe balabye nga byonoonese ne bassaako kakokola tondeka nnyuma n'abatuuze ne babasimbako.

Abatuuze basobodde okukwatako omu omulala n'abeesima-ttulako wabula gwe bakutte ne bamukuba okutuusa lwe bamusse. Ye Ssemata baamututte mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi.

Gwe basse baakebedde essimu gye yabadde nayo ng'eri mu mannya ga Ali Mukasa. Abatuuze nga bamaze okutta omubbi baagenze ewa Businga ne basanga nga Nassaazi omukka abaka mubake ne batandika okumuwujja okutuusa bw'azze engulu wabula nga yenna atafaananika olw'engeri gye baabadde bamukubyemu.

Omutuuze Edward Kigguddu yagambye nti ababbi ab'ekika kino kati bangi mu kitundu kino era ono abadde waakubiri nga ogwasooka baalumba mutuuze munnaabwe emisana ne bamubba nga tewali ategedde kyokka bwe baamala okumubba ne bamuleka nga bamusibye emiguwa.

Baasabye Gavumenti okuteeka kkamera mu byalo okusinga bwe banaazimalira mu bibuga ate mu byalo abantu bafa era singaowa bodaboda tayatuuse mu budde tewali yanditegedde eyasse omukozi w'awaka n'ensonga eyamussizza. Poliisi y'e Matugga yatutte omulambo mu ddwaaliro e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...