TOP

Drake azze n'amateeka agatiisizza abasuubuzi

Added 3rd March 2019

Drake azze n’amateeka agatiisizza abasuubuzi

 Abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Qualicel mu lukiiko.

Abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Qualicel mu lukiiko.

ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe ky'omugagga Drake Lubega (ekya Qualicel Bus Terminal) bavudde mu mbeera ne batiisatiisa okuggala amaduuka gaabwe n'okuyimiriza enteekateeka z'okumusasula ssente z'obupangisa okutuusa ng'asazizzaamu ebiragiro by'okubasasuza ssente z'emyezi egyayita gye baali baasasula obukulembeze bw'ekiwayi kya Muhangi.

Abasuubuzi okutuuka ku kino kiddiride ebiragiro ebikakali ebyabaweeredwa obukulembeze bwa Drake Lubega omwabadde:

Eky'okubasasuza ssente z'obupangisa za myezi etaano (okuva mu November w'omwaka oguwedde -2018) omugenzi Charles Muhangi lwe yawamba ekizimbe kino okutuusa mu March w'omwaka guno (2019).

Okubasasuza ssente zino obutasukka ku Mmande nga March 5, 2019 okusobozesa obukulembeze bw'ekizimbe kino okuddukanya emirimu gyakyo obulungi.

Embeera eno y'etabudde abasuubuzi ne bakkaanya obutaddamu kukombya ku Drake Lubega nnusu ya bupangisa yonna n'okutiisatiisa okuggala amadduuka gaabwe nga March 6, 2019 okutuusa nga Lubega asazizzaamu ebiragiro bye.

Abasuubuzi bano abaakulembeddwaamu Justine Nabakka, Mahad Kakooza, Justine Namatovu ne Lydia Kunihira baayisizza ekiteeso ky'okuggalawo amaduuka gaabwe okutuusa ng'ebitongole bya gavumenti okuli Palamenti, kkooti ne Pulezidenti Museveni nga bavuddeyo ne babayamba.

Bino byabadde mu nsisinkano abakulembeze b'ekibiina kya KAAFO abaakulembedwa Ibrahim Mboowa ne Sulaiman Mpagi gye baabaddemu n'abasuubuzi bano ku kizimbe kya Mukwano Arcade ku Lwokutaano akawungeezi.

DRAKE LUBEGA ABAANUKUDDE Abasuubuzi balina okusasula ssente ze bamaze ebbanga lya myezi 5 nga tebasasula kubanga ekizimbe kibanjibwa obukadde obusoba mu 400 ez'amasannyalaze ge bakozesezza okuva mu November.

Yabasabye okuzisasula mu bwangu n'akozesa n'enjogera egamba nti: "Omuntu tayinza kutandika kugenda mu bbanka gy'atalina akawunti n'asabayo ssente era nti bw'agikozesa ensobi ne bazimuwa bbanka yennyini y'evunaanyizibwa okusisasula." Yabawadde amagezi bazisasule oba okulinda ekiddako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...