TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikwata ku mbeera y'obudde omulimi by'alina okumanya

Ebikwata ku mbeera y'obudde omulimi by'alina okumanya

Added 4th March 2019

EKISEERA ky’okusimba kitandise era abalimi bakubiriziddwa okugula ensigo ennongooseemu ezitambula n’embeera y’obudde egenda okubeera mu bitundu byabwe.

 Abalimi nga bakebera ensigo ze baagala okugula.

Abalimi nga bakebera ensigo ze baagala okugula.

Bw'abadde afulumya enteebereza y'embeera y'obudde Dr. Festus Luboyera akulira ekitongole kya Uganda National Meteorological Authority agamba nti, abalimi n'abalunzi abagenda okusimba mu lusimba olusooka, balina okwetegeka kuba enkuba etandise wadde nga waliwo ebitundu ebimu gy'etennatandika.

Dr. Luboyera agamba nti, sizoni eno etandise ku ntandikwa y'omwezi gwa March era abalimi abeetegeka basobola okutandika okusimba.

Enkuba esuubirwa okutonnya okutuusa mu June. Minisita w'obulimi, obulunzi n'obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja awadde abalimi amagezi mu bitundu enkuba gy'etennatandika kutonnya, okulinda waakiri wiiki emu ettaka lisooke okuwola balyoke basimbe.

Ssempijja agamba nti, enkuba bw'ebeera yakatandika, ettaka libaamu ebbugumu eribabula ensigo ne zitamera bulungi n'endala ne zitabala bulungi olw'okukosebwa kwe zifuna nga tezinnamera.

"Abaakozesa ttulakita okukabala basobola okusimba kuba ettaka lyakyusibwa era ebbugumu si lya maanyi.

Mu ngeri y'emu abalimi mulina okwetegekera ekiseera ky'akasana ekitera okubeerawo mu sizoni nga kino kitera kuba kya wiiki nga bbiri wabula obulabe bwe kireka bubeera bwa maanyi", Ssempijja bw'agamba.

Disitulikiti n'engeri enkuba gy'esuubirwa okutonnya Kampala, Wakiso, Mpigi, Butambala, Masaka, Lwengo, Kalungu, Bukomansimbi, Gomba, Mityana, Kalangala. Eno enkuba esuubirwa ku ntandikwa ya March ne mu makkati.

Yaakunyinyittira mu ntandikwa ya April ng'esuubira okuggwaayo mu May. Nakasongola, Luweero, Kyankwanzi, Nakaseke, Kiboga, Mubende, Sembabule, Lyantonde, Kyotera ne Rakai. Enkuba eno esuubirwa okutandika ku ntandikwa ya March oba mu makkati g'omwezi.

Esuubirwa okunyiinyittira mu makkati ga April okutuuka ku nkomerero yaagwo ate esuubirwa okuggwaayo ku nkomerero ya May okutuuka ku ntandikwa ya June.

Mukono, Buikwe, Kayunga, Buvuma eno nayo esuubirwa okutandika ku ntandikwa ya March okutuuka mu makkati ennyiinyitire mu makkati ga April okutuusa ku nkomerero ate esuubirwa okuggwaayo ku ntandikwa ya June.

Disitulikiti eziri mu bugwanjuba bw'eggwanga omuli; Bundibugyo, Ntoroko, Kabarole, Kyenjojo, Kyegegwa, Kamwenge, Kibaale, Kakumiro, Kagadi, Hoima, Kikube, Buliisa, Masindi, enkuba esuubirwa okutandika mu March ennyiinyitire mu April olwo eggweeyo mu makkati ga June.

Kisoro, Kabale, Rubanda, Rukiga, Rukungiri, Kanungu, Ntungamo, Mbarara, Kiruhura, Iingiro, Ibanda, Bushenyi, Buhweju, Mitooma, Sheema, Rubirizi and Kasese. Enkuba esuubirwa okytandika ku nkomerero ya February okutuusa ku ntandikwa ya March, enyiinyittire ku ntandikwa okutuusa mu makkati ga April ate esuubirwa okuggwayo ku nkomerero ya May oba ku ntandikwa ya June.

Arua, Maracha Moyo, Zombo, Nebbi, Pakwach, Yumbe, Koboko, Terego ne Adjumani.

Esuubirwa okutandika ku ntandikwa ya March okutuusa mu makkati enyiinyittire ku nkomerero ya April okutuusa ku ntandikwa ya May olwo egende ng'ekkakkana okugwayo mu makkati ga June.

Gulu, Omoro, , Lamwo, Nwoya, Amuru, Oyam ne Kiryandongo, yaakutandika ku ntandikwa ya March okutuusa mu makkati g'omwezi, ennyiinyitire mu makkati ga April okutuusa ku ntandikwa ya May olwo oggweeyo mu makkati ga June.

Lira, Amolatar, Apac, Alebtong, Pader, Otuke, Kitgum, Agago, Kole ne Dokolo, enkuba esuubirwa okutandika ku ntandikwa ya March okutuuka mu makkati olwo ennyiinyitire mu makkati ga April okutuusa mu makkati ga May olwo eggweyo mu makkati ga June.

Katakwi, Moroto, Kotido, Nakapiripirit, Nabilatuk, Abim, Napak, Amudat ne Kaabong enkuba esuubirwa okutonnya ku nkomerero ya March, ennyinyitire ku njomerero ya May olwo eggweeyo mu makkati ga June.

Pallisa, Budaka, Kibuku, Butaleja, Kumi, Kaberamaido, Soroti, Serere, Amuria, , Bulambuli, Kween, Bukwo, Bukedea ne Ngora, Mbale, Sironko, Manafwa, Namisindwa, Bududa, Kapchorwa eno enkuba esuubirwa okutandika mu makkati ga okutuusa ku nkomerero ya March, ennyiinyitire ku nkomerero ya April okutuusa ku ntandikwa ya May olwo oggweeyo ku nkomerero ya June.

Jinja, Mayuge, Kamuli, Iganga, Bugiri, Namayingo, Luuka, Namutumba, Buyende, Kaliro, Busia ne Tororo enkuba esuubirwa okutandika ku ntandika ya okutuusa ku nkomerero ya March, ennyiinyitire mu makkati ga April okutuusa ku ntandikwa ya May eggweeyo ku nkomerero ya May okutuusa ku ntandikwa ya June.

Mugule ensigo ennongooseemu Dr. Ambrose Egona akulira ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza n'okuvumbula esingo z'ebirime empya ekya National Agricultural Research Organization (NARO), awadde abalimi amagezi okusimba ensigo enoongoseemu okusobola okufuna mu ssamba zaabwe.

Dr. Egona agamba nti, omulimi okufuna mu bulimi alina okulima mu ngeri y'enjawulo ng'asimba ensigo z'ebirime ennoongoseemu okusinziira ku mbeera y'obudde n'ebirala ebiri mu kitundu kye.

"Bwe muba mugenda kufuna enkuba ntono, musimbe ebika ebikula amangu okugeza kasooli ow'ennaku 70.

Ate abali mu bitundu ebigenda okufuna enkuba ennyingi, musimbe ebika ebikula obulungi mu nkuba", Dr. Egona bw'agamba.

Agamba nti, kino kiyamba omulimi obutafiirizibwa mu mbeera zonna n'abakubiriza n'okuliikiriza ettaka kuba ebirime bikola bulungi ng'ettaka lirimu ebiriisa bye byetaaga.

Mu ngeri y'emu abalimi n'abalunzi abawa amagezi okulembeka amazzi okusobola okufukirira mu biseera by'akasana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...