TOP

Bakutte 2 abalundira emisota mu muzigo

Added 4th March 2019

POLIISI ng’eyambibwako abatuuze bakutte abasajja babiri abagambibwa okulunda emisota n’ekigendererwa eky’okugitunda baggyemu ssente.

 Abatuuze n’abaserikale nga bakuba omusota ebifaananyi. Mu butono wansi ye Kyomuhendo (ku kkono) ne Begame abaakwatiddwa.

Abatuuze n’abaserikale nga bakuba omusota ebifaananyi. Mu butono wansi ye Kyomuhendo (ku kkono) ne Begame abaakwatiddwa.

Abakwate ye Richard Kyomuhendo 30 ne Felix Begame 55, abapangisa ku nnyumba za Faisal Ssebadduka abatuuze mu Kakungulu zooni mu munisipaali y'e Kawempe.

Okukwatibwa kyaddiridde abatuuze mu kitundu kino okutegeeza ab'ebyokwerinda ku kyalo nabo abaategeezezza poliisi eyabakutte oluvannyuma lw'okubeekengera.

Kigambibwa nti bamaze ebbanga nga balunda emisota egy'ebika eby'enjawulo n'ekigendererwa eky'okugitunda bafunemu ssente. Rogers Mbuse omu ku babadde balabirira amayumba abakwate kwe babadde babeera, yategeezezza nti abasajja bano omuzigo gwe babadde bapangisa mubadde musulamu abantu abasoba mu 10.

Oluvannyuma lw'okugwa mu lukwe nti ennyumba gye babadde bapangisa 300,000/- buli mwezi babadde bagirundiramu misota, twategeezezzaako ab'ebyokwerinda abazze ne baaza ennyumba okukkakkana nga tugudde ku misota esatu okwabadde n'ettemankima.

Mu kiseera abaserikale we batuukidde ku muzigo gwabwe mwabaddemu abasajja babiri n'abakazi basatu kyokka abakazi badduse poliisi n'ekwata Kyomuhendo ne Begame.

Abatuuze baagambye nti abadde ku bunkenke ng'abaana baabwe tebabaganya kwetaaya olw'okuba babadde babeera ne baliraanwa abalunda ensolo z'omu nsiko ekitadde obulamu bwabwe mu matigga.

Baasanyukidde ekya poliisi okukwata abasajja bano ne babasaba banoonyereze bulungi okusobola okuzuula akatale k'emisota gye babadde balunda.

Hussien Zziwa omu ku bali ku lukiiko olukulembera zooni y'e Kakungulu, yategeezezza nti abasajja bano babadde tebabalinaako likodi mbi kyokka beewuunyizza okufuna amawulire nti babadde balunda ensolo z'omu nsiko mu bukyamu.

Kyomuhendo yagambye nti ye akola gwa bulimi mu disitulikiti y'e Fortportal era gye yaggya omusota guno ng'abadde nagwo wiiki emu kyokka ng'ali mu nteekateeka yaakugutwalira abavunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko aba, "Uganda Wild life Centre (UWEC)" bamuweemu ssente wabula yeegaanyi eky'okuba n'akatale gy'abadde atunda emisota gino.

Ate Begame yagambye nti omusota Kyomuhendo ye yaguleese nga baabadde bagenda kugutunda obukadde 10 n'agamba nti ebbanga lye bamaze nagwo babadde baguliisa menvu n'amatooke agavunze.

Luke Owoyesigyire, omyumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti Kyomuhendo ne Begame bagguddwaako omusango gw'okubeera n'ensolo z'omu nsiko mu bukyamu ku fayiro SD:REF:19:27/02/2019.

Yagambye nti balinze ab'ekitongole kya Uganda Wild Life Centre okuzzaayo omusota ogwazuuliddwa mu kkuumiro ly'ebisolo e Ntebe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'asaba eggulo mu Kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya  e Bukondo.

Mudde eri Katonda kubanga l...

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira  akuutidde Abakulisitaayo okudda eri Katonda kubanga ly'ekkubo...