Ababaka Vicent Ssempijja ne Ssewungu Gonzaga ab'e Kalungu ng'abannyonnyola abantu
WABALUSEEWO olutalo lw'ebigambo olupya e Kalungu wakati w'ababaka ba Palamenti Joseph Gonzaga Ssewungu owa Kalungu West ne Minisita w'obulimi obulunzi n'obuvubi Vincent Ssempijja owa Kalungu East,nga luvudde ku masannyalaze agatandise okubunyisibwa mu kitundu kino.
Amasannyalaze gano mubuna byalo ge ga Pulojekiti ya Rural Electrification Project evudde mu looni ey'obukadde bwa ddoola 150 Gavumenti ze yewola mu ggwanga lya Abu Dhabi.
Minisita Ssempijja bwe yabadde atalaaga disitulikiti eno ng'ayanjulira abatuuze abamu ku ba Yinginiya abagenda okukola omulimo guno,yalabudde banna byabufuzi obutagezako kubuukira na kwetuuma masannyalaze gano nga banonyezako obuganzi eri abalonzi nti kubanga tewali nomu amanyi ntandikwa yaago ntuufu okugyako yye.
Yanyonnyodde nti mu 2013 nga tanalondebwa na ku bwa Minisita, yali omu ku ttiimu eyagenda ne Pulezidenti Museveni e Abu Dhabi okusaka amasanyalaze gano ng'ekimu ku bisuubizo omukulembeze w'eggwanga ono bye yalina okutuukiriza eri banna Kalungu.
Ssempijja yayongeddeko nti naye teyasooka kumanya kyali kimutwazizza kwe kubuuza ku muwanika wa Gavumenti Keith Muhakanizi naye eyali ku lugendo luno, n'amutegeeza nti baali ku bya kusayininga looni y'amasannyalaze g'e Kalungu kyokka oluvannyuma eyagaziyizibwa n'ebitundu bya Greater Masaka ebirala ne bigifunako,wano
era yalaze abantu fayiro gy'agamba nti y'erimu buli kalonda wa Pulojekiti eno n'awera nti munna byabufuzi yenna anajja ng'agamba nti y'asakidde abantu enkulakulana eno asooke kubalaga fayiro efaananira ddala eyiye.
Bino olugudde mu matu ga Ssewungu atandikiddewo okusaabulula ebigambo bya Minisita Ssempijja n'ategeeza nti mu Kalungu ye mubaka yekka azze alondoola Pulojekiti y'amasannyalaze eno okuva looni y'ago lwe yayanjulwa mu Palamenti,n'agamba nti era abaddenga yewuuba bwomu mu wofiisi z'abakwatibwako ng'abateeka ku nninga okulaba ng'omulimo guno gutandika.
Gonzaga Ssewungu asizidde Lusaana mu Kalungu Town Council naye n'awera nti ataddewo obukadde bw'ensimbi za Uganda kkumi,omuntu yenna bw'avaayo n'amuwa bwiino nga Minisita Ssempijja y'ali emabega w'okuleeta amasanyalaze gano e Kalungu.