TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amannya g'abantu abalala Rwanda b'esonzeeko n'ebbanga lye bamaze mu busibe

Amannya g'abantu abalala Rwanda b'esonzeeko n'ebbanga lye bamaze mu busibe

Added 5th March 2019

Rwanda erumiriza Uganda okuyigganya bannansi baayo ng’ebasibira mu bifo ebitali bimu.

 Omu ku basibe Abanyarwanda (mu ppinki) bwe yali ayogerako ne munnamateeka we Eron Kiiza mu kkooti y'amagye e Makindye.

Omu ku basibe Abanyarwanda (mu ppinki) bwe yali ayogerako ne munnamateeka we Eron Kiiza mu kkooti y'amagye e Makindye.

Olukalala olugambibwa okuba olwa bannansi ba Rwanda abayigganyizibwa mu Uganda olwafulumiziddwa minisita omubeezi wa Rwanda avunaanyizibwa ku mawanga g'obuvanjuba bwa Afrika Oliver Nduhungirehe kwabaddeko Rene Rutagungira agambibwa nti yakwatibwa August 5, 2017 era nti amaze mu nkomyo ennaku 566.

Peter Siborurema agambibwa okukwatibwa nga March 11,2018 ng'amaze ennaku 287 ku kitebe kya bambega ekya CMI, Emmanuel Rwamucyo agambibwa okukwatibwa nga May 26, 2018 amaze mu kkomera e Makindye ennaku 272.

Ono agambibwa nti yakwatibwa lwa misango gyekuusa ku kusangibwa na mmundu.

Austine Rutayisire agambibwa okukwatibwa nga May 26, 2018 naye agambibwa okukwatibwa n'emmundu era ng'ali Makindye gy'amaze ennaku 272.

Abagambibwa okuba ku ku kitebe kya bambega b'amagye (CMI) kuliko Eric Rugorotsi yakwatibwa October 25,2018 ng'amaze mu nkomyo ennaku 120, Benard Kwizera amaze mu nkomyo ennaku 69, David Twahirwa amazeeyo 69, Moses Ishimye eyakwatibwa December 22, 2018 amaze mu nkomyo ennaku 62, Rogers Donn Kayibanda eyakwatibwa January 1, 2019 ng'amaze mu nkomyo ennaku 42, Emmanuel Ndayambaje yakwatibwa January 10, 2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...