TOP

Uganda yaakafiirwa obuwumbi 10 mu nnaku ttaano

Added 5th March 2019

UGANDA efiiriddwa ssente ezisoba mu buwumbi 10 mu nnaku ettaano, Rwanda z’emaze ng’eggadde ensalo yaayo ne Uganda okuli Katuna awasinga okuyisibwa ebyamaguzi.

Kyokka okuggala ensalo kisinga kukosa Rwanda kubanga ebyamaguzi byayo ebisinga bituukira Mombasa ne biyita mu Uganda okutuuka e Rwanda.

Omukutu gw'amawulire ogw'ensi yonna ogukwata ku byobusuubuzi gulaga nti, Rwanda ebintu by'esinga okukozesa ebisuubula mu Uganda era y'ensi gy'esinga okusuubulagana nayo mu nsi yonna.

Omukutu gwa Trade Map, Trade statistics for international business development gulaga amawanga Rwanda gy'esinga okusuubula. lUganda egulayo ebitundu 14 ku 100

Kenya ebitundu 13 ku 100

China ebitundu 10 ku 100

Buyindi ebitundu 7 ku 100

Amerika ebitundu 5 ku 100

Bufalansa ebitundu 2 ku 100

Rwanda by'esinga okugula mu Uganda kuliko emmere naddala ey'empeke okuli omuwemba, kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa n'omucere. Rwanda era esuubula mu Uganda enyaanya, kaamulali n'ebirala.

Ebirala Rwanda by'eggya mu Uganda kuliko amasannyalaze, eddagala n'ebyobujjanjabi, omunnyo, amata, sukaali, ebyuma bya sitiiru, aluminiyamu, seminti, layimu, ebidomola, embaawo n'ebirala.

Mu 2017 wokka, Rwanda yagula ebintu bya ddoola obukadde 182 mu Uganda. Mu ssente za Uganda.

Bw'ogatta ssente ezo nga ddoola emu ogibalidde ku 3700/- ogyamu eza Uganda obuwumbi 672. Mu nnaku ettaano ensalo ze zimaze nga nzigale, Uganda efiiriddwa obuwumbi 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...