TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda eyiye abaserikale ku nsalo ne Rwanda okukuuma obutebenkevu n'okulwanyisa ababbi

Uganda eyiye abaserikale ku nsalo ne Rwanda okukuuma obutebenkevu n'okulwanyisa ababbi

Added 5th March 2019

Poliisi eyiye abaserikale ku nslo ya Uganda ne Rwanda okukuuma obutebenkevu. Ku nsalo eno emmotoka eziriko ebyamaguzi zikonkomaliddewo okuva Rwanda lwe yaggala ensalo zaayo.

Fred Enang, omwogezi wa poliisi mu ggwanga.

Fred Enang, omwogezi wa poliisi mu ggwanga.

POLIISI eyiye abaserikale ku nsalo ya Uganda ne Rwanda  okusobola okukuuma mmotoka ezittise ebyamaguzi ezaagaaniddwa okuyingira eggwanga lino, okusobola okutangira ababbi n'okukuuma obutembenkevu .

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti "Okugezaako okulondoola ebigenda mu maaso ku nsalo ya Uganda ne Rwanda  poliisi yasazeewo okuyiwa abaserikale okusobola okulondoola ebigenda maaso n'okutangira ababbi  okubba ebyamaguzi ku mmotoka," Enanga bwe yategeezezza

Yagambye nti nti mu kusooka abasuubuzi baali balagiddwa okuyitira e Mirama Hills okusobola okuyingira mu ggwanga lya  Rwanda oluvannyuma lw'okuggala ensalo e Katuna ne Kyaka wabula wonna ne basanga nga nayo waggaddwa n'ekibaleetera okunkonkomalira ku nsalo.

Yategeezezza  nti obukiiko obukola ku nsonga z'ebyokwerinda mu disitulikiti eziriraanye ensalo eno butandise  okuteesa naddala ku byokwerinda ng'enkiiko zikubirizibwa ba RDC n'abebitongole by'ebyokwerinda byonna. Yasabye abantu okuba abakkakkamu ng'enteeseganya bwe zigenda mu maaso .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu