TOP

Omusuubuzi bamukutte ne muk'omusajja n'akudaala

Added 5th March 2019

SSEMAKA maama w’abaana be abasatu gwe yasabye amukkirize agende asule mu dduuka lye olunaku lumu olw’okuba kkufulu ze ezimu baazibbako, aguddewo ekigwo bw’akutte mukwano gwe nga beeraga amapenzi ne mukyala we.

 Nekusa ng’abakulembeze b’ekitundu ne poliisi bamukutte. Ku ddyo, Nanteza muk’omusiguze.

Nekusa ng’abakulembeze b’ekitundu ne poliisi bamukutte. Ku ddyo, Nanteza muk’omusiguze.

Muhammed Mawanda 39, omutuuze w'e Kireka Bbira ku lw'e Mityana ye yakutte mukyala we, Prossy Nabakiika 40, ng'asinda omukwano ne mukwano gwe, Stanley Nekusa 49 mu dduuka ku ssaawa 7:00 ekiro.

MAWANDA ANNYONNYOLA

Maze ebbanga nga bahhamba nti mukwano gwange (Nekusa) ayagala mukyala wange era ne mmulabula amuveeko n'agenda ku poliisi n'anzigulako omusango gw'okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe.

Ku Ssande nga March 3, 2019, mukyala wange yakedde kunkubira ssimu ng'ansaba agende asule mu dduuka lye kubanga kkufulu eziriko tezimala ng'ate endala baazibba ne mukkiriza.

Waliwo eyantemezzaako nti amulabye emisana n'omusiguze mu mmotoka ye nga bagenda ku ssomero ly'abaana okubakyalira era ne mbateekako mbega abatambulireko.

Bwe baavuddeyo baasoose kuwummulirako awantu ne ziwera ssaawa 6:00 ez'ekiro ne bayingira mu dduuka.

Nagenze ewa ssentebe w'ekyalo ne ku poliisi ne tubagwako ku ssaawa nga 7:00 ez'ekiro. "Naweddemu amaanyi okuteeka omutwe ku luggi okuwuliriza kye baliko.

Nazzeeko kuwulira nga Prossy ayimbira omusiguze oluyimba lw'eggwanga omuli n'eggono kumpi kukuba nduulu nze ky'atankolerangako emyaka gye tumaze" Bwatyo Mawanda bwe yategeezezza.

 ekusa ngabakulembeze bekitundu ne poliisi bamukutte Nekusa ng'abakulembeze b'ekitundu ne poliisi bamukutte.

Nekusa bwe baamukutte, ab'akakiiko nga bayambibwako poliisi baamututte ku ofiisi za LC 1, era Mawanda n'asaba bakole endagaano n'omusiguze amukwase abadde mukyala we era Nekusa n'akkiriza.

"Ssebo Mawanda sirina mutawaana na kutwala mukyala wo kubanga ebyange naye byatandika dda era nkweyanzizza. Ndi musajja mukulu atayinza kusuula mukyala ono mu buzibu ate ne muleka mu bbanga," Nekusa bwe yabalaase.

Mawanda yagambye nti mu December, 2017, Prossy yamuteekako akazito amufunire ssente ayongere mu bizinensi era n'amusaba basinge amaka gaabwe agasangibwa e Kireka Bbira mu bamanerenda ne babawa obukadde 25.

"Ssente zannemerera era ennyumba baagitwalidde ku bukadde 60 wiiki ewedde. Nakitegedde ggulo nti abadde mukwano gwange yali emabega ng'akozesa mukyala wange n'ampeeka okwewola ssente.

PROSSY NABAKIIKA

Okunkwatira mu bwenzi sikyegaana era nkigenderedde kubanga Mawanda aludde ng'anjooga nga tanfaako wadde okulabirira abaana be ng'ali ku bakazi balala.

Njagala naye awulire bwe kiruma ng'omwagalwa wo ayenze. Ssejjusa kusangibwa ne Nekusa era nze nsaba atuleke tufumbiriganwe.

STANLEY NEKUSA AYOGEDDE

Ono agambibwa okuba nga yalimbye mukyala we nti agenze mu kyalo okuziika era nga yabadde tagenda kudda ku Ssande.

 ndagaano gye baakoze Endagaano gye baakoze

 

Agamba nti, "Mawanda by'anjogerako ebisinga bikyamu naye nkimanyi nti abyogera lwa kumutwalako mukyala we era siyinza ku muleka.

Njagala akimanye nti omwaka oguwedde bwe yalina emisango ne bamusiba namuteeramu obukadde 3 n'okuwa famire ye ebyokulya naye emmere gye namutwaliranga mu kkomera yali alowooza nti taasasule?" Nekusa bwe yakuddadde.

Nekusa yabadde akyali awo ne mukyala we, Teddy Nanteza n'ajja era yakaze amaaso n'amugamba nti asalewo kimu okusigala naye oba okugenda kubanga essaawa eno gy'aliko akola byafaayo era asiba faamu y'abakyala kubanga alina n'omulala e Masanafu.

Nanteza yabaddewo ng'omujulizi ng'ateekako omukono ku ndagaano nga Mawanda awa bba muggya we.

Mathias Ssengonzi nga ye ssentebe w'ekitundu akakasizza nti kituufu abafumbo bano baawukanidde ku ofiisi zaffe era omukyala n'atwalako omwana omuto ow'emyaka esatu ate Mawanda n'atwala abakulu ababiri.

Ssente obukadde 10, Mawanda z'abadde alina okuwa Prossy ku ssente z'enju gye baabatutteko bakkiriziganyizza amusasulireko ssente za bbanka zokka endala engeri gy'asigazza abaana azitwale.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...