TOP

Ssaalongo bamukute mu bubbi bwa bodaboda

Added 5th March 2019

Kato bwe yakwatiddwa yategeezezza nga bwe yabba pikipiki asobole okunoonyeza abalongo eky’okulya kubanga embeera yali emukalubiridde.

 Ssaalongo eyakwatiddwa

Ssaalongo eyakwatiddwa

Ssaalongo akwatiddwa mu bubbi bwa bodaboda ne yeewozaako nti abadde ayiiyiiza balongo be

Christopher Kato 27, abeera mu Maganjo B nga muzimbi ye yakwatiddwa poliisi y'e Kasangati oluvannyuma lwa Bruce Nyesiga okumulumiriza okubba pikipiki ye nnamba UEL232M. 
Nyesiga yategeezezza nti; nga February 13, 2019 Kato yagenda  ku siteegi n'amusaba amuvuge amutwale e Nabuti alabe bannyina.

N'agamba nti yamulinda ne baddaayo bonna kubanga  yalina ebintu bye bamusibiridde kyokka baali bakatuuka  e Busukuma n'amutegeeza nga bw'aliko mukwano gwe gwayagala okuwa ku bintu.

Yayimirizza pikipiki asobole okuggyako ebintu era n'avaawo okugenda mu kaabuyonjo kyokka yagenda okudda nga Kato asimbula pikipiki era bwe yamubuuza gye yali agitwala n'amutegeeza nga bw'agenda ku ‘Mobile Money' okuggyayo ssente. 

Yamuleka n'agenda kyokka yakanda ku mulinda nga tamulaba era amassimu ge yamukubira nga tagakwatta.

Yaggulawo okusango ku fayiro nnamba  SD: 29/14/02/2019 ne batandika okunoonya pikipiki okutuusa bwe baagizuula. Wabula Kato bwe yakwatiddwa yategeezezza nga bwe yabba pikipiki asobole okunoonyeza abalongo eky'okulya kubanga embeera yali emukalubiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...