TOP

Abeebijambiya bayingiridde omutuuze ne bamutema

Added 5th March 2019

ABAZIGU beebijambiya bayingiridde omutuuze e Nateete mu kitooro zooni ne bamutemaatema oluvannyuma ne bakuuliita n’ebimu ku bintu by’omu nnyumba.

 Walusimbi Lubwama (wakati) ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago mu bulumi obw’amaanyi.

Walusimbi Lubwama (wakati) ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago mu bulumi obw’amaanyi.

Walusimbi Lubwama akola obwa kinyoozi ku Yamaha Center mu Kampala yaddusiddwa mu ddwaaliro ng'ataawa oluvannyuma lw'okusangibwa ng'ali mu nnyumba ye ng'agahhalamye mu kitaba ky'omusaayi.

Abazigu baayingiridde Walusimbi mu kiro ekyakeesezza mmande wakati w'essaawa 9:00 ne 10:00 ez'ekiro ng'enkuba etonnya.

Winfred Nabukenya muliraanwa wa Walusimbi agamba nti, "Twabadde twebase ng'enkuba etonnyerera kwe kuwulira enduulu ezivuga, nga eddoboozi lya musajja ne tumanya nti waliwo munnaffe ayingiriddwa era twagenze okulingiza mu ddirisa nga tulaba ewa muliraanwa oluggi luggule ate nga n'enduulu gye twabadde tuwulira ng'esirise. " Nabukenya bw'annyonnyola.

Ayongerako nti, baakubidde atwala ebyokwerinda ku kyalo eyazze mu budde obwo era bwe yatuuse n'abatuuze abalala ne bafuluma ne basembera okulaba ekituuseewo.

Baagenze okutuuka mu nnyumba ya Walusimbi ng'agudde wansi avaamu omusaayi mungi mu feesi ng'alaajana.

Baamutemye ejjambiya wakati w'omutwe, ennyindo w'etandikira n'okutuuka wansi w'akalinda minyira n'omumwa.

Abazigu okuyingira baakozesezza kyuma ne babinula akabaati k'oluggi kwe kukozesa akuuma ke kamu okusumulula ekinyolo munda kuba teyataddeko kkufulu ne banguyirwa okuggulawo ne bayingira.

Obwana bwe obubiri bwabadde asula nabwo mu nnyumba bw'abadde ku bbali nga bukaaba wabula nga tebamanyi kituseewo.

Abatuuze baamututte mu ddwaaliro n'aweebwa obujjanjabi obusookerwako. Ku makya poliisi y'e Nateete yagenze mu maka ga Walusimbi okwekebejja ekyabaddewo era ne bagenda ku kalwaliro gye yatwaliddwa n'aggyibwayo n'atwalibwa e Mulago olw'ebiwundu ebinene bye yafunye.

Atwala poliisi y'e Nateete Vincent Mbaziira yategeezezza nti, ab'ebijambiya bano be basoose mu kitundu kino era n'akakasa abatuuze nti ebikwekweto bigenda kukolebwa okulaba ng'abantu abatamanyiddwa mu kitundu bakwatibwa.

Yakakasizza nti, abaayingiridde Walusimbi babbye ne ttivvi n'essimu ye ey'omu ngalo. Omusango ku ttemu lino gwagguddwaawo ku fayiro SD: 25/4/3/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...