TOP

Alaajana lwa bba eyawambibwa

Added 5th March 2019

OMUKAZI asobeddwa abasajja ab’emmundu bwe baalumbye amaka ge ne bawamba bba ne mwannyina ne babakuba mu mmotoka ne bababuzaawo kati ennaku musanvu.

Esther Kagoya y'ali mu maziga oluvannyuma lw'abasajja bataano abaalumbye amaka gaabwe e Nantabuulirirwa Seeta mu Mukono.

Kagoya agamba nti baabadde n'emmundu musanvu ne bakwata bba Ivan Ntambi ne mwannyina Arthur Mugoya ne babulawo nabo wiiki ewedde.

Ntambi musuubuzi wa kasooli n'omuceere e Mubende nga kasooli amukubamu obuwunga mu Kisenyi- Kampala.

Kagoya yagambye nti abasajja bano abaabadde mu mmotoka ekika kya Noah nnamba UBE 569R baayutte bba ne mwannyina era nga bano baayisiddwa mu ngeri yeemu gye baayisaamu Yusuf Kawooya owa DP nga October 18, 2018 bwe baali bamukwata okumpi ne Klezia ya Christ the King mu Kampala kuba abakwate baagenze bafuuwa musaayi olw'ebiwundu bye baafunye ku mutwe nga babakubye ebigala by'emmundu.

EBYABADDEWO NGA BAKWATIBWA

Twabadde tuwumuddemu ku Sande awaka nga tutudde tunyumyamu n'omugenyi mwannyinaze Arthur Mugoya akola eby'amasannyalaze g'omunnyumba.

Zaabadde saawa 7:30 ez'emisana, abasajja abaabadde batambulira mu mmotoka ekika kya Noah enjeru nga bali mu ngoye ezabulijjo ne bajja awaka ne basimba emmotoka yaabwe okuliraana omulyango oguyingira mu kikomera.

Mu kaseera katono baakonkonye ekikomera era tebaalinze na kubaggulira twabeekangidde mu luggya.

Baabadde abasajja bataano nga balina emmundu musanvu, ennene bbiri ne pisito ttaano kuba buli omu yabadde alina ekyokulwanyisa ate nga waliwo n'abalala abaabadde basigadde mu mmotoka ebweru.

Nabadde wabweru nga baze ne mukoddomi we bali mu nju era ne bambuuza Ivan aliwa? Tebaasibyemu beesozze butereevu enju baatutegeezezza nti balina by bagenda okumuubuuza nebafuluma naye nti balina yebaabadde bamugamba bweyafulumye wabweeru w'ekikomera baamusindiikiriza ku mpaka okumutuusa mu mmotoka era mwalimu ne banaabwe.

Mukoddomi we yavuddeyo nababuuza ekikwasa Ntambi era naakuba n'emmotoka ebifaananyi.

Wano olutalo we lwavudde nga baagala okumuggyako essimu era mu kavuvungano kano abatuuze baakungaanye.

Baamukubye ekigala ky'emmundu n'agwa ng'afuuwa omusaayi.

BAMUKWATA GWA KUBIRI

Kagoya yategeezezza Bukedde nti guno gwabadde gwakubiri nga Ntambi akwatibwa mu ngeri yeemu n'abuzibwawo.

Ogwasooka gwaliwo mu November 2018 era nga yatwala wiiki bbiri nga tamanyiddwa kifo w'akuumirwa kyokka oluvannyuma baamuleeta ne bamusuula ku poliisi ya Jinja Road.

Oluvannyuma yatwalibwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako ogw'obufere nti yali afeze omu ku Bazungu abakola oluguudo lwa Northern bypass ayitibwa Paul Vitala, n'ayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Abadde alina okudda mu kkooti nga March 4, 2019 yadde omuzungu gwe bamuvunnaana okufera talabikangako mu kkooti.

Kagoya yayongeddeko nti atambudde ku buli poliisi okuli eya Nantabuulirirwa, Seeta, Mukono, Jinja Road, CPS, Flying squad ne Naggulu wabula tebalina ky'amaanyi kye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...