TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda etandise bubi mu z'omukwegezaamu e Turkey

Uganda etandise bubi mu z'omukwegezaamu e Turkey

Added 5th March 2019

Uganda etandise bubi mu z'omukwegezaamu e Turkey

 Abazannyi ba Uganda nga basanyukira Ggoolo gyebaasoose okuteeba mu kitundu ky'omuzannyo eky'asoose

Abazannyi ba Uganda nga basanyukira Ggoolo gyebaasoose okuteeba mu kitundu ky'omuzannyo eky'asoose

Bya Joseph Zziwa

TTIIMU ya Uganda eyabali wansi w'emyaka 17"The Cubs" ekiguddeko bw'etimpuddwa Cameroon goolo 4-1 mu mupiira gw'esoose okuzannya mu bibinja. 

Kino kirese omutendesi Jackson Magera n'akakiiko ke nga bewuunya kuba Uganda yatandise namaanyi nga yeyasoose n'okuteeba nga eyita mu Rogers Mugisha aguzannyira mu Mbarara City ey'abato mu dakiika ye 15.

Ebintu bigenze bikyuuka era weguwumulidde nga guli 1-1,mu kitundu eky'okubiri ekisenge kya Uganda ekidduumirwa Gavin Kizito Mugweri(Vipers) kyongedde okulagaya okukkakana nga Uganda ekubiddwa goolo 4-0 eziteebeddwa Wamba Lionel x2,Mvoue Steve ne Alioum Seidou,songa n'omuzannyi wa Uganda John Rogers aguzannyira mu Onduparaka ey'abato afunye kaadi emyuufu.

Kati Uganda egenda kuttunka ne Morocco enkya ate ku lw'okutaano esembyeyo Belarus 

gy'ebibinja.

Ekigendererwa ky'empaka zino kugezesa mawanga agaakiika mu Mpaka za AFCON U17 ez'akamalirizo ezigenda okubeera mu gwanga lya Tanzania omwezi gw'okuna nga zategekeddwa CAF nga eyambibwako UEFA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...