TOP

Baminisita ba Kabaka bawaddeyo ofiisi

Added 5th March 2019

Baminisita ba Kabaka abakyusiddwa n'abaggya abaaziyingidde ofiisi ez'enjawulo baakoze omukolo gw'okukyusa n'okuyingira mu ofiisi ezo mu butongole.

 Dr. Twaha Kaawaase ne Dr. Nankindu nga basala keeki

Dr. Twaha Kaawaase ne Dr. Nankindu nga basala keeki

OMUMYUKA asooka owa Katikkiro, Dr. Twaha Kaawaase agambye nti wakyaliwo omulimu munene ogw'okukola okutereeza ebyenjigiriza bya Uganda abaana bayigirizibwe bave ku ky'okuyita obuyisi ebigezo kuba kireetedde abaana okufuluma amasomero nga tebalina kye basobola kukola.

Yabyogeredde Bulange- Mmengo ku mukolo kwe yaweereddeyo ofiisi y'Obwaminisita w'ebyenjigiriza ku Mmande. Yeebazizza Kabaka olw'okugatta ebyenjigiriza eby'emikono ku nsomesa eriwo kuba yaakuyamba abayizi okufuluma nga balina bye basobola okukola. 

Ofiisi eno yagikwasizza Dr. Prosperous Nankindu Kavuma abadde omumyuka we. Yamusabye ayongere mu maaso kaweefube w'okusomesa abazadde obuvunaanyizibwa bwabwe mu kusomesa abaana, Kabaka Mutebi gwe yatongoza mu 2017 e Kyankwanzi -  Ssingo.

Dr. Nankindu nga kati ye Minisita avunaanyizibwa ku nkulaakulana y'abantu ba Buganda omuli ebyobulamu, ebyenjigiriza, Abakyala n'ekikula ky'abantu saako ensonga z'ekitongole kya Nnaabagereka yagambye nti ssinga bagenda okukola nabo bakulembeza obuyiiya, okulowooza, okuwuliziganya n'okukolera awamu, emirimu gyakwanguwa.

Laeticia Nakimuli- Dayirekita w'ebyenjigiriza e Mmengo ne Amos Gitta- kamisona mu kitongole kino beebazizza Dr. Kaawaase ku lwa bannaabwe olw'obukulembeze obw'ekyokulabirako by'ayolesezza okukwata obudde mu buli kintu era ne beeyama okukolagana obulungi ne minisita omuggya.

Dr. Kaawaase yafuuka Minisita w'ebyenjigiriza mu 2013 ate mu October 2015, Kabaka n'asiima n'amufuula Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda okutuuka February 22, 2019 we yamuweeredde obuvunaanyizibwa obuggya. Abakozi baamukoledde keeki nga baagisaze ne Dr. Nankindu.

Mu ngeri y'emu baminisita abalala abaawummuziddwa baawaddeyo ofiisi mwe babadde okuli Minisita Omubeezi ow'ebyobulambuzi Rita Namyalo Kisitu nga yakwasizza David Kyewalabye Male kati atwala ebyobulambuzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...