TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bulawuzi etabudde abooluganda omu nafumita munne makansi mu bulago n'afa​

Bulawuzi etabudde abooluganda omu nafumita munne makansi mu bulago n'afa​

Added 5th March 2019

Bulawuzi etabudde abooluganda omu nafumita munne makansi mu bulago n’afa​

 ABatuuze nga basitula omulamboi okuguggya mu nnyumba

ABatuuze nga basitula omulamboi okuguggya mu nnyumba

ABATUUZE   mu muluka gwa  Kawempe 1 East  mu Mbogo zooni baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lwa abooluganda okufunamu obutakkannya  omu n'afumitta munne makansi mu bulago.

Linda Nakyanzi ow'emyaka 16 yagambibwa okufumita mukulu we Olga Naluwuge 19 makansi  abadde asoma obusomesa ku tendekero lya YMCA e Wandegeya mu mwaka gwe ogusembayo

Albert Luswata taata w'abaana bano  ategeezezza nti abaana bano basoose kufuna butakannya nga buva ku Nakyanzi kwambala ngoye okuli  bulawuzi  n'akalega ka mukulu we nga wano  wewavudde olutalo.

Nakyanzi ku poliisi akirizza eky'okutta mukulu we n'agamba nti yakikoze mukwetaasa kuba  Naluwuge y'abadde  amusika enviri n'okumutugga

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano ategeezezza nti Nakyanzi akumibwa ku poliisi eKawempe, aguddwako ogw'obuttemu  ku fayiro nnamba: SD REF: 06/05/03/2019.

Mohamad Lule Kagubaala ssentebe w'ekitundu kino yasabye abazadde naddala abakyala okukomya okwawula mu baana nga babalaga nti balina gwe basinga okwagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...