TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Philo Mwesigwa akulaze engeri gy'oyinza okweggya mu bwavu

Philo Mwesigwa akulaze engeri gy'oyinza okweggya mu bwavu

Added 5th March 2019

Philo Mwesigwa akulaze engeri gy'oyinza okweggya mu bwavu

Philo Mwesigwa ng'annyonnyola

Philo Mwesigwa ng'annyonnyola

PHILO Mwesigwa (Philip Mwesigwa Lutaaya) eyeegulidde erinnya mu kusomesa, okubuulira n'okuzzaamu abantu essuubi naddala abo ababeera beekyaye (Motivation & Inspiration Speaker) abuuliridde bakozi banne aba Bukedde famire ku mbeera abakozi mu bitongole eby'enjawulo gye bayitamu etuuse n'okubakyaya emirimu gyabwe.

Philo agamba nti abakozi abamu beesulubabba ku mirimu ne bakola ng'abatayagala mirimu gyabwe ne batamanya nti omulimu kintu kikulu nga ssinga gubeera guvuddewo bayinza okukaaba amaziga oba okwekyawa.

Yagambye nti embeera naddala ey'ebyenfuna eyeeyongedde okukaluba etuusiza abakozi abamu ku mirimu okwekyawa n'okuggwamu amaanyi nga kati bakozesa ebigambo omuli :Obusente bwe batuwa tebumala, nze n'ebintu bya wano byantama, tuli bakoowu, kkampuni eno si ya taata wo.

Bakozi banne aba Bukedde famire yabakubirizza obutaggwaamu ssuubi okutuuka ku mbeera y'okwetamwa emirimu gye bakola wabula baagale nnyo omulimu gwabwe n'okukola n'amaanyi okusinga okwejjusa nga bakugobye ku mulimu.

Yabakubirizza okubeera abatetenkanya nga batereka ku ssente ze bakola basobole okwezimba n'okugatta ku mirimu gye bakola oba okwetegekera obulamu obuyinza okuddako ng'ofi iriddwa omulimu gwo.

Yabagambye nti basobola okutereka ku ssente nga baziggya ku musaala gwe bafuna nga kino yagambye nti osobola okukikola buli lunaku, ku nkomerero y'omwezi oba ebbanga eggere.

Yabawadde eky'okulabirako nti ye mu emyaka 10 gy'amaze mu kkampuni yatandikawo enkola y'okutereka ekitono nnyo; 500/- buli lunaku nga zino aziteeka mu bidomola awaka.

Mwesigwa alagibwa ku Bukedde TV1 ku Lwokutaano ku ssaawa 10:30 ez'olweggulo ne ku Lwomukaaga 8:00 ez'emisana ne ku Ssande ssaawa 9:00, agamba nti obumu ku ‘bulwadde' obusinga okuluma Bannayuganda kuggwaamu ssuubi era kino kye kimuleetedde okuvaayo okutandika okukola omulimu gw'okuzzaamu abantu essuubi n'amaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....