TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakadde bawawaabidde mutabani waabwe eyababba ekyapa

Abakadde bawawaabidde mutabani waabwe eyababba ekyapa

Added 6th March 2019

Abakadde bawawaabidde mutabani waabwe eyababba ekyapa

ABAKADDE baddukidde mu kakiiko ne bawawaabira omwana wa mwannyinaabwe eyababbako ebyapa n'atunda amaka mwe babeera e Kamwokya n'ettaka ly'ebiggya e Wobulenzi n'asimula ebiggya bya bajjajja be ne kitaawe.

Margaret Nanfuka 92 ne muganda we, Feresta Namugga 72, be baddukidde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy'ettaka ne baloopayo mutabani waabwe, Gerald Kasule olw'okubabbako ebyapa. Nanfuka eyazze nga bamukwatiridde okutambula okutuuka mu kakiiko yalombojjedde Omulamuzi Catherine Bamugemereire ennaku gy'ayitamu.

Yagambye nti yali awo e Kamwokya nga babalagira okuva mu kifo kitaabwe, omugenzi Gabudyeri Bagunywa kye yabalekera. Yannyonnyodde nti Kasule yajja n'amusaba amuwe ebyapa agende mu ofi isi z'ebyettaka akebere oba ddala ebyapa bye balina bituufu. Bwe yabimuwa yagenda okulaba ng'ennaku ziyiseewo nga takomawo kwe kutandika okumunoonya.

Baasalawo ensonga ne bazitwal ku poliisi ya Kira Road kyokka tebaayambibwa. Nanfuka yayogedde ng'eddoboozi lijegemera n'olumu nga bwe bamubuuza addamu n'ayitaba nga tabiwulidde. Ettaka lye baalina ku bbulooka 29 poloti 632 lyaliko ‘decimal' 21 (libeera likunukkiriza okuweza poloti eya 100X100) kitaabwe Bagunywa eyafa mu 1971 ye yalibalekera. Okwo n'agattako yiika mwenda e Kalule Bulemeeze.

Nanfuka we yali abeera e Kamwokya yalinawo emizigo ena ng'asulako mu gumu esatu n'agipangisa kyokka Kasule olwamala okutunda nga tebategedde yamuleeterayo obukadde 10 n'azimusuulira ye ne yeeyongerayo. Kati Nanfuka yabudama Kasangati era yategeezezza akakiiko nti okufuna eky'okulya Katonda y'amanyi.

Namugga yategeezezza nti kitaabwe yabazaala abaana 11 kyokka basigadde mukaaga abalala baafa. Bwe yali afa n'aleka ekiraamo ng'ettaka ly'e Kamwokya alyawuzzaamu abawala n'abawaako ekitundu n'abalenzi ne batwala oludda. Ekyababuukako, mu 2012 kwe kufuna abantu ababasindiikiriza nga babategeeza nti Kasule mutabani w'omugenzi Kalooli Kalule ye yabaguza.

Nanfuka yategeezezza akakiiko nti yonna gy'addukidde okufuna obuyambi tabufunye kati yabudama Kasangati ate Namugga abeera Wampeewo mu Kito, e Kamwokya tebakkirizibwa kulinnyawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.