TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino Omukristaayo by'alina okussaako essira mu kisiibo

Biibino Omukristaayo by'alina okussaako essira mu kisiibo

Added 6th March 2019

Biibino Omukristaayo by’alina okussaako essira mu kisiibo

EKISIIBO ky'Abagoberezi ba Kristo kitandika ku Lwokusatu naye bangi batabulwa ku makulu gaakyo. Omulabirizi w'e Mityana eyawummula Rt. Rev. Dr. Dunstan Copoliano Bukenya abuuliridde Abakkiriza ku makulu g'okusiiba n'abasaba okukomya Obukristaayo obw'ebigambo obugambo okutali bikolwa birungi ebisiimibwa Katonda.

lYannyonnyodde amakulu g'ekisiibo n'ategeeza nti kye kiseera omukkiriza oba Abakkiriza kye bawaayo okwekebera mu myoyo okulaba we basobezza mu maaso ga Katonda ne beenenya era ne babonerera obutaddamu kukola bisobyo ebibaggyako ekisa n'emirembe gya Katonda.

l"Ekisiibo kiseera kya buli omu kwekebera, okusaba Katonda okutusonyiwa, okuwaayo obudde okumunoonya, okwewaayo ku lwa bannaffe be tuba tusuuliridde, n'okwebonereza nga tweresa bye twagala naddala emmere kituyambe okwefumiitiriza ku bununuzi bwa Katonda.

lOkusiiba enjala kirumya emibiri gyaffe era buli lwe tufuna obulumi buno tutandika okwebuuza nti lwaki tuyita mu bulumi buno oba lwaki twerumya nga tusiiba?

Ng'abakkiriza ekitusiibya kwe kufuna embeera etuleetera okunoonyereza ku bibi byaffe buli ssekinnoomu, okubinakuwalira, okubyenenya n'okusaba Katonda atujjuze Omwoyo Omutukuvu buli ssekinnoomu ku ffe, akuume emitima gyaffe gireme okuddamu okutuleetera okukola ebibi.

lEbibi bye bikolwa ebitasanyusa Katonda, ebitwala omuntu mu kuzikirira era ebimu ku byo mulimu: obwenzi, obulogo, ettamiiro, obukenuzi, obulyazaamaanyi, okusamira, okubba, ettima, enyombo, omuze gw'okusiga enjawukana mu bantu n'ebirala ng'ebyo (Abaggalatiya 5: 19). Ebibi bino n'ebirala bireeta okufa n'okuzikirira.

lEbibi bino tebiva kungulu ku mibiri gyaffe wabula munda mu mitima ne mu myoyo gyaffe. Eno y'ensonga lwaki twetaaga Katonda kuba ye yekka awonya endwadde z'omu myoyo. Ate Rev. Erick Kasirye agamba nti obulamu bw'Omukristaayo bulina okwefumiitiriza ku bikemo Mukama waffe Yesu Kristo bye yasanga n'afunamu eky'okuyiga. Agamba nti nga Yesu bwe yasobola okuvvuunuka ebikemo bino, n'Omukrisitaayo mu kisiibo kino alina okulwana okulaba ng'abivvuunuka asobole okwewangulira enneema okuva eri Katonda.

lMu kikemo kya Yezu ekyasooka sitaani amugamba nti addire amayinja agafuule emigaati asobole okuwona enjala, wabula Yezu n'amuddamu nti omuntu tabeerawo lwa kulya kwokka, wabula n'ekigambo kya Katonda.

Abakristaayo balafuubana nnyo okulaba nga bafuna eky'okulya n'okubeera mu bulamu obulungi. Wabula wakati mu kulafuubana kuno twesanga nga tukoleddemu ebintu ebibi bingi ebinyiiza Katonda. Muno mwe muva emize ng'obubbi, okutta bannaffe n'ebirala. Mu kisiibo kino Abakrisitaayo balina okukkiriza embeera yonna Katonda gy'aba atutaddemu kubanga ebaako eby'okuyiga bingi.

Tulina okwewala omululu n'okupapa mu kisiibo, tusobole okwetangira okwonoona. lMu kikemo ekyokubiri Yezu bamutwala ku yekaalu waggulu, Sitaani n'amugamba nti bwaba mwana wa Katonda aveeyo agwe wansi, Katonda ajja kumuwanirira aleme kukosebwa. Wabula wano era Yezu yagaana wadde nga sitaani yamuwa n'ebyawandiikibwa ebitukuvu.

Muno Abakristaayo bayigamu nti wadde Katonda yatusuubiza okutukuuma, tetulina kwenyigira mu bikolwa bya bulagajjavu eri obulamu bwaffe kubanga obulamu bwe bugagga.

Twegendereze bye tunywa ne bye tulya, tuve ku ttamiiro, n'okwegadanga okutalina nsonga kuba tusobola okufiirwa obulamu. Bp. Bukenya agamba nti tewali Mukkiriza asaanye kugamba nti ye talina kibi kya kwenenyeza Katonda kuba n'okuwulira obubi mu mutima nga munno ayambadde olugoye olulungi, kibi kuba kiraga nti toyagaliza banno birungi.

Mu kisiibo tugenda kubeera nga tusaba buli lunaku, okwenenya, okusoma ekigambo kya Katonda, okwesabira n'okusabira bannaffe abatamanyi bulungi bwa Katonda badde gyali, ate n'okwewaayo ku lwa bannaffe be tubadde tusuuliridde naddala abali mu bwetaavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...