TOP

Bizinensi mukisa oba bumanyi?

Added 6th March 2019

Bizinensi mukisa oba bumanyi?

 

Bizinensi kye ki?

Ekigambo bizinensi okusinziira ku nkuluze ya Oxford Advanced Leaners', gwe mulimu ogw'okukola, okugula, okutunda n'okutambuza ebyamaguzi omuli ebikwatibwako n'engalo n'obuweereza nga gukolerwa ssente. Omulimu guno, omuntu aguyingiramu ng'asuubira okufuna oba okufiirwa.

Obumanyi kye ki? Omuntu yenna addukanya bizinensi ateekwa okuba n'obumanyi obumusobozesa okutuukiriza ekigendererwa ekyatandisaawo omulimu ogwo era ng'asobola okuguyimirizaawo nga gukola amagoba. Bizinensi eteekwa okuyingiza ennyo ate ng'efulumya kitono.

Bizinensi entuufu temala gasaasaanya ssente era yeewala okufiirizibwa. Emirimu gy'ekola giteekwa kuba gya mulembe era nga giri ku mutindo. Omutandisi oba addukanya bizinensi eno ateekwa okulaba nga buli muntu oba ekikozesebwa mu bizinensi kigiyamba okufuna amagoba buli kadde.

Omukisa kye ki? Omukisa kwe kuba n'obusobozi okumalawo obwetaavu mu kiseera ekigere ate nga kituufu. Ssinga okozesa obusobozi buno, n'oggyawo obwetaavu, oba okozesezza bulungi omukisa era abakulaba bagamba nti, gundi waamukisa.

Omukisa gutandikira wa?

Buli muntu azaalibwa n'omukisa era nga twenkana. Wabula bwe tutandika obulamu, abamu bongera okulongoosa omukisa gwabwe okugeza okusoma. Naye waliwo abalala abayinza okusigala nga tebalongoosezza mukisa gwabwe.

Oyinza okuzaalibwa mu Amerika, eno nsi ngagga era buli omu yandirowoozezza nti oli waamukisa ggwe azaalibwayo, naye ate bw'oteefaako kulongoosa mukisa gwo guno, oyinza obutayambibwa era ng'obalibwa mu batalina mukisa.

Wano mu Uganda, Dr. Sulaiman Kiggundu yalaba obuzibu, mu Bannayuganda abasuubuzi. Bwe yakizuula nti, waliwo obwetaavu obwa ssente ez'amangu ng'ate si za buseere. Dr. Kiggundu kwe kutandika bbanka ekola bino: l Okuwola ssente mu kaseera akatono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...