
Ensogasoga nga bw’efaanana.
ENSIGO z'ensogasoga zimanyiddwa okuliibwa amayuba, era bajjajjaffe baali baagazirekera ne batamanya nti waliwo emiganyulo gye bafi irwa ssinga tebazikozesa.
Olw'okuliibwa ennyo amayuba baggyawo n'enjogera nti, ‘Asimba ensogasoga teyeekaanya mayuba'. Mu Uganda zisibuka mu Busoga era amayuba googerwako okutambuza ensigo okuva e Busoga ne zituuka mu Buganda okwo gattako okuziteeka mu Kiyira nga kirowoozebwa nti mwe zaayita okutuuka e Misiri.

Bwe zaatuuka e Misiri, baakizuula nti osobola okuzikozesa ng'omumuli, era baaziteekangako ppamba okukola emimuli, kuba abamu baasulanga mu mpuku nga bagikozesa okufuna ekitangaala okugoba ebisolo. Naye bajjajjaffe baazitya nga bagamba nti, zirimu obutwa era zitta.
Kino kituufu, kuba mulimu ekirungo kya ‘Ricin' ekiri mu kikuta kyayo. Wabula ssinga ozisiika, ekirungo kino kivaamu ne zisigala nga tezirina mutawaaana nga bw'olaba soya nti aba waabulabe nga tomusiiseeko, kyokka bw'omusiikako aba talina mutawaana.
EMIGASO GY'ENSOGASOGA
Ensigo ssinga ozisiikako, oluvannyuma osobola okukamulamu butto ayamba ku lususu, bangi mugula ‘Caster oil' ne mulowooza nti linnya, wabula oyo bamukamula mu nsigo za nsogasoga, ssinga okozesa butto ono ku lususu terukosebwa musana.
Wano osobola okumakamula n'omukolamu ssente, ng'oguza abantu abeetaaga woyiro olw'emigaso gye.

Ku bakyala abakutuka enviiri n'osaasaanya ssente mu saluuni n'okugula ebizigo ebimeza enviiri, ate nno bya buseere. Ezo ogenda kuziteeka mu bizinensi, anti butto w'ensogasoga bw'onoomusiiga mu mutwe togenda kuddamu kukutuka nviiri, kye kimu ne ku muntu alina situka.
Bwe kituuka ku mulimi, butto w'ensogasoga miiru 20 bw'oziteeka mu liita 20 ez'amazzi n'ofuuyira mu kyeya, ebizigo bino biyambako ebirime obutakosebwa nnyo musana, naye kino tekitegeeza nti tolina kufukirira.
Empunya yaabyo egoba ebiwuka mu nnimiro, kati bw'ofuuyira okuziyiza omusana ate ofunamu n'okugoba ebiwuka, omuli n'obusaanyi.
Ayambako ku bakyala okuzibukuka enseke ne ku bizimba, ate abaagala okweyoza mu lubuto nammwe bakolera. Wabula omukyala ali olubuto ggwe ate tomukozesa kuba asobola okuluggyamu.

Ku muntu ali mu bizinensi y'okusiiga enjala, butto w'ensogasoga wandibadde omwekwata anti ayamba okugumya enjala. Abakyala engeri gye baagala enjala zaabwe, mu kubasiiga wandibadde oteekako butto zijja kuguma bulungi zireme okukutuka ekijja okukwongera bizinensi.
Ensogasoga era ziyambako ku mugaba, abakyala ab'embuto bafuna mugaba n'abasajja abamu abanene nabo bamufuna, ssinga omukozesa akuyamba n'amalako mugaba. Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.