TOP

Poliisi evuddeyo ku yayokeramukazi we mu nju

Added 6th March 2019

Poliisi evuddeyo ku yayokeramukazi we mu nju

OFIISA wa poliisi eyanoonyereza ku musango gwa Mohammed Kateregga agambibwa okugezaako okutta mukazi we e Mbuya ng'akozesa petulooli awadde ensonga lwaki baamuggulako ogw'okugezaako okutta omuntu.

Steven Wolimbwa okuva ku poliisi ya Jinja Road yategeezezza kkooti y'e Nakawamu ey'omulamuzi Agnes Alum ebikwata ku musango oguvunaanwa Kateregga eyagezaako okutta mukazi we Suzan Kawala.

Wolimbwa yagambye nti nga January 9, 2019 baamuleetera Kateregga nga bamuteebereza okwokya ennyumba ya Kawala esangibwa e Mbuya era ne bamuwa ebizibiti bye baamukwata nabyo okwali obucupa bubiri n'olugoye nga biwunya petulooli wamu n'emmotoka ye, ekika kya Nissan ng'eno baamutegeeza nti gye yalimu.

Yagenda mu maka ga Kawala e Mbuya n'asanga ng'ennyumba yayidde naddala mu ddiiro, lye yakozesanga nga saluuni, kyokka kyo ekisenge tekyajja. Yeeyongerayo mu ddwaaliro e Kiruddu Kawala gye yali okumuggyako sitetimenti era yasanga ali mu bulumi.

Kawala yamutegeeza nga Kateregga bwe yali amwokedde mu nnyumba nga yeeyambisa akacupa era ng'amafuta gano yagayisa mu ndabirwamu y'eddirisa lye yali ayasizza eggulolimu nga muno mwe yayisa akabiriiti akaakoleeza ennyumba. Kawala yamutegeeza nti yakuba enduulu era baliraana be baamutaasa n'atwalibwa mu e Kiruddu okufuna obujjanjabi.

Muserikale munne, Obadiah Ekinu yamutegeeza nti Kateregga emmotoka ya Nissani, ye yabategeeza nti yiye nga yasangibwamu akacupa ke baateebereza okubaamu amafuta era baamukwata ng'adusseeko mmita 100 okuva ku nnyumba gy'agambibwa okwokya. Wolimbwa yakizuula nti Kateregga ne Kawala baali bafumbo kyokka mu kiseera ekyo baali baayawukana nga Kateregga yali yalekawo Kawala n'agenda mu maka amalala gye yalina omukazi omulala.

Wolimbwa yagambye nti ng'amaze okufuna obujulizi obwo yatwala fayiro eno ewa Godwin Agaba akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi ya Jinja Road ng'ono ye yaggula ku Kateregga emisango gy'okugezaakookutta omuntu wamu n'okwokya ennyumba.

Wabula yategeezezza nti emmotoka ya Nissan gye baakwata ne Kateregga teriiwo ku poliisi ya Jinja Road nga baagiwa Mohammed Bukenya ng'ono ye taata wa Kateregga nga yabategeeza nti emmotoka eno teyali ya Kateregga wabula yali ya muganda we Sulaiman Kibalama eyagimukwasa okugira ng'agikuuma era yaleeta n'empapula ezikakasa obwannannyini buno.

Agambye nti okunoonyereza ku musango guno tekunnakomekkerezebwa kubanga bakyalinda lipooti okuva mu kitongole kya poliisi ekikebera ebimu ku bintu ebiraga nti oba Kateregga yakozesa petulooli okwokya ennyumba ya Kawala. Omusango guno omulamuzi Alum agwongeddeyo okutuuka nga March 11,2019. Mu kiseera kino Kawala akyapooca n'ebiwundu mu ddwaaliro e Kiruddu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...