
Nsagu FC, abeeyita 'abaana ba Maama Nsagu' baakikoze aba Lukaya FC be baabajoogedde mu kisaawe kyabwe ne babakuba ggoolo 1-0. Lukaya, etendekebwa Reagan Ndaula yabadde ekyazizza Nsagu FC, mu za Buganda Ligyoni.
Wadde mu kusooka abazannyi ba ttiimu zombi baalabise ng'abeetidde, oluvannyuma beerumbye, Lukaya n'essubwa emikisa gy'enkizo, olw'abateebi Ali Kainamula ne Ibrahim Kasenge, okulemwa okuyita ku ggoolokipa wa Nsagu, Nelson Kabiri.
Michael Jeero ye yateebye ggoolo ya Nsagu, mu kitundu ekyokubiri. Kino kyawadde omutendesi Simon Ndunga ne Maama Nsagu (Josephine Nnakaweesi, omuyima) essanyu ly'obuwanguzi bw'obugenyi. Nnakaweesi ne Ndaula baasabye abawagizi ba ttiimu zaabwe okubadduukirira n'ensimbi z'okuziyimirizaawo.
Nsagu FC, abeeyita 'abaana ba Maama Nsagu' baakikoze aba Lukaya FC be baabajoogedde mu kisaawe kyabwe ne babakuba ggoolo 1-0. Lukaya, etendekebwa Reagan Ndaula yabadde ekyazizza Nsagu FC, mu za Buganda Ligyoni. Wadde mu kusooka abazannyi ba ttiimu zombi baalabise ng'abeetidde, oluvannyuma beerumbye, Lukaya n'essubwa emikisa gy'enkizo, olw'abateebi Ali Kainamula ne Ibrahim Kasenge, okulemwa okuyita ku ggoolokipa wa Nsagu, Nelson Kabiri. Michael Jeero ye yateebye ggoolo ya Nsagu, mu kitundu ekyokubiri. Kino kyawadde omutendesi Simon Ndunga ne Maama Nsagu (Josephine Nnakaweesi, omuyima) essanyu ly'obuwanguzi bw'obugenyi. Nnakaweesi ne Ndaula baasabye abawagizi ba ttiimu zaabwe okubadduukirira n'ensimbi z'okuziyimirizaawo.