
Nambooze ne Kagimu
AB'EKISINDE kya People Power basazeewo Meeya wa Mukono Munisipaali, George William Kagimu avuganye omubaka Betty Nambooze ku bubaka bwa palamenti mu 2021.
Olukiiko olwakakasizza Kagimu lwatudde Makerere nga lwe tabiddwaamu abakungu ba People Power ab'enjawulo okwabadde; John Marry Ssebuwufu, Micheal Mabikke, Samuel Lubega Mukaaku, Fred Nyanzi n'abalala. Bino byonna biddiridde olutalo olwabaddewo ku Lwomukaaga ku Bulange abawagizi ba People Power bwe baalumbye Besigye nga baagala okumukolako effujjo.
Wiiki ewedde, aba People Power nga bakulembeddwaamu omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), Dr. Lulume Bayigga, Dr. Abed Bwanika ne Moses Kataabu baakyalidde Kagimu bwe yabadde ategese akabaga ne boogera ku byobufuzi eby'enjawulo.
Mabikke yagambye nti ezimu ku nsonga ze baayogeddeko era ne bagikkaanyaako ye y'okusimba Kagimu ku bubaka bwa Mukono Munisipaali. Yagambye nti, ekirungi ne Kagimu yakkirizza era beetegefu okumuwa obuwagizi bwonna obwetaagisa kuba bakizudde nga Nambooze yasalawo kutambula na FDC.
Yagambye nti, waliwo abantu ab'enjawulo abali mu People Power abeegwanyiza ebifo ebyenjawulo, kyokka bajja kufuba okulaba nga buli kifo kyesimbwako omuntu omu okulonda bwe kunaatuuka.
Mabikke yagambye nti, ekirala kye baasazeewo kwe kusimbawo Dr. Abed Bwanika ku bwa Loodi Meeya wa Kampala asobole okusiguukulula Erias Lukwago. Wadde nga Latif Ssebaggala gwe bali naye mu kisinde ye yasooka okwerangirira, kyokka baakizudde nga Bwanika y'amusinza embavu era gwe bagenda okutambula naye.
Omwogezi wa DP, Kenneth Paul Kakande yagambye nti, ekiseera kino si kya kweyagaliza bifo n'alabula nti abalwanira ebifo bayinza okutta ensonga. Yagambye nti, enkolagana yaabwe ne FDC ekyaliwo era tebaagala ntalo wadde omu okulumba munne.
Yategeezezza nti, ekibiina kya DP kirina enteekateeka ey'enjawulo gye kigenda okwanjula egenda okutwala eggwanga mu maaso nga kikolaganira wamu n'ebibiina ebirala n'agamba nti okulwanagana kiwa NRM mukisa gubamegga