TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekiseera kya kukyusa mu nneeyisa yaffe - Dr. Lwanga

Ekiseera kya kukyusa mu nneeyisa yaffe - Dr. Lwanga

Added 7th March 2019

Ekiseera kya kukyusa mu nneeyisa yaffe - Dr. Lwanga

 Ssabasumba Lwanga n’asiiga vvu mu Lutikko e Lubaga.

Ssabasumba Lwanga n’asiiga vvu mu Lutikko e Lubaga.

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu ery'e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yennyamidde olw'ettemu eryeyongedde mu ggwanga naddala erikolebwa ku baana abato. Bino yabyogeredde mu Mmisa y'okusiiga evvu mu Lutikko e Lubaga mw'asabidde Bannayuganda okukozesa obudde buno obw'ekisiibo okwezza obuggya n'okudda eri Omukama.

Dr. Lwanga yasabye Bannayuganda okusabira emirembe mu ggwanga n'amawanga agatuliraanye okutabagana ne bannaffe nga twefumiitiriza ku mmoto y'eggwanga lyaffe ‘Ku lwa Katonda n'Ensi yaffe.'

Yennyamidde olw'obutabanguko mu maka obweyongera buli lukya n'asaba Abakristu okumanya nti ekisiibo tekitegeeza kusiiba mmere wabula okukyusa mu nneeyisa yaffe naddala nga twewala ebikolwa ebitali bya Bwakatonda.

Yabakubirizza okukwata ebiragiro bya Katonda, okwagalana ne bantu bannaffe, okwegayirira, okukola ebikolwa eby'ekisa, okusoma Bayibuli buli lunaku n'okuyamba abali mu bwetaavu.

Ssaabasumba yasomedde Abakristu obubaka bw'Omutukuvu Paapa Francis eyayagalizza Bannayuganda ekisiibo ekirungi n'okusabira emirembe mu maka n'eggwanga lyonna. Bwanamukulu w'e Lubaga, Fr. Joseph Mary Bbuye yasabye Abakristu okukozesa ekisiibo okubonerera n'okuwagira emirimu gy'Omukama

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...