TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Faaza Kaseeta asabye Abakristu okwekubamu ttooki mu bye bakola

Faaza Kaseeta asabye Abakristu okwekubamu ttooki mu bye bakola

Added 7th March 2019

Faaza Kaseeta asabye Abakristu okwekubamu ttooki mu bye bakola

 Faaza Kaseeta mu kusiiga vvu ku Vision Group. Ku ddyo ye Ssaabakristu Ssebowa.

Faaza Kaseeta mu kusiiga vvu ku Vision Group. Ku ddyo ye Ssaabakristu Ssebowa.

FAAZA Joseph Kaseeta akubirizza abakkiriza okukozesa ekiseera kino eky'ekisiibo okuzza obuggya enkolagana yaabwe ne Katonda ne bantu bannaabwe. Bino yabyogeredde ku kitebe kya Vision Group efulumya n'olupapula lwa Bukedde e Lugogo bwe yabadde akulembeddemu Mmisa y'okusiiga evvu.

Yasabye abantu okukomya okusalira bannaabwe emisango wabula bulimu omu yeekubemu ttooki alongoose ebitagenda bulungi mu maaso ga Katonda we n'okujjukira nti ku nsi tuli bagenyi.

Fr. Kaseeta yajjukiza Abakristu okunyweza empagi essatu enkulu mu kisiibo okuli okwegayirira, okusiiba n'okukola ebikolwa eby'ekisa. Yavumiridde emize egitali gya Bwakatonda egyeyongedde omuli okuggyamu embuto, obwenzi, okutulugunya abaana, obutabanguko mu maka, obulimba n'abatulugunya bannaabwe ku mirimu ne batuuka n'okubagobesa.

Yanenyezza abafumbo abakkakkana ku baagalwa baabwe ne babakuba emiggo, abakazi naddala abayimbi abambala enkunamyo n'agamba nti be bavuddeko obwenzi okweyongera.

Yasiimye kkampuni ya Vision Group olw'okusomesa Bannayuganda ng'eyita ku mikutu gyayo wabula ne yeekokkola bannamawulire ssekinnoomu abeenyigira mu kuwandiika amawulire ag'obulimba ku bantu n'ekigendererwa eky'okuboonoonera amannya.

Micheal Ssebowa, Ssaabakristu w'akabondo ka Yozefu Omutuukirivu akatwala Vision Group era nga ye mumyuka w'omukuηηanya wa Bukedde yasabye bakozi banne okuwaayo eri abanaku mu budde buno obw'ekisiibo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...