TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ne ISO tebakwataganye ku by'ababbi abattiddwa

Poliisi ne ISO tebakwataganye ku by'ababbi abattiddwa

Added 8th March 2019

Poliisi ne ISO tebakwataganye ku by’ababbi abattiddwa

 Abaserikale ba poliisi nga bakebera ebiwandiiko bya Bright Turyatunga omujaasi wa SFC.

Abaserikale ba poliisi nga bakebera ebiwandiiko bya Bright Turyatunga omujaasi wa SFC.

Nevia ROKUKUBAGANA empawa kweyongedde ku kituufu ekyabaddewo nga bambega ba ISO basindirira ababbi ba ssente amasasi e Kyambogo ku Lwokubiri akawungeezi. ISO yalondodde ababbi bano abaabadde balondoola mmotoka ya kkampuni ya G4S eyabadde etambuza ssente za Stanbic Bank okuva e Kayunga ne Mukono ne babattira e Kyambogo, wabula abana okwabadde ne ddereeva Michael Oketch ne babulawo n'obukadde 671 ne pawundi za Bungereza 5,000.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, baazudde essimu ya ddereeva Oketch gye yabadde nayo era baakwataganye n'aba kkampuni aya G4S ne babawa ebimukwatako byonna.

Ku Lwokusatu emisana, ISO yawaddeyo ssente ezisoba mu buwumbi bubiri ze baasobodde okutaasa okuva ku babbi eri abakungu ba Stanbic Bank ne G4S. Bano oluvannyuma lw'okwekebejja buli kimu, baategeezezza nti, bookisi 16 zaabadde zikyajjudde ssente, bookisi ssatu zaabadde nsumulule nga ssente mweziri, bookisi musanvu ssente zonna zaabadde zitwaliddwa ate mu bookisi bbiri, zaabadde mu mmotoka nga nkalu.

Ekikolwa ky'okuwaayo ssente, poliisi egamba nti kyakoleddwa mu bukyamu kubanga omusango omunene bwe gutyo, tebamala gawaayo ssente kubanga ziba zijja kwetaagibwa mu kkooti ng'ekizibiti. Enanga yagambye nti, ISO okuwaayo ssente waakiri yandisoose kutegeeza Ssaabawaabi wa Gavumenti, kubanga omusango bwe guba gwakugenda mu kkooti, walina okubeerawo obujulizi n'ebizibiti ebyogerwako mu fayiro.

EBIBUUZO BYEYONGEDDE Abaserikale ba poliisi y'e Kyambogo abadduukiridde amasasi agaabadde gavuga mu kitundu kyabwe beebuuza lwaki bambega ba ISO baayanguye okuva mu kifo we battidde ababbi ate ne ssente ne batabakkiriza kuzikwatako!

ISO erumiriza nti, ebiseera ebisinga mu misango egirimu ssente bwe zitwalibwa ng'ekizibiti tezirabikako. Bano bawa ekyokulabirako ky'ababbi abaalumba omugagga Muto e Masaka ne babba ssente, ebizibiti bwe byatuuka mu mikono gy'abeebyokwerinda, nnannyini ssente yafunako ezitawera wadde ekitundu ky'ezo ze baakwata n'ababbi.

Obutakkaanya wakati wa poliisi ne ISO buludde okuva ISO lwe yakwata omukazi Christine Mbabazi Umuhoza eyali muninkini w'omugenzi Andrew Felix Kaweesi mu maka ge e Lungujja. Poliisi bwe yagendayo okumununula, emmundu zaavaayo nga bagamba nti tebalina gye bamutwala kubanga baali bafunye amawulire ku lukwe lw'okutta omukazi ono ISO gwe yalina ng'omu ku bajulizi baayo mu musango gwa Kaweesi.

ISO bwe yabadde ewaayo ssente eri aba bbanka ne G4S, Col. Frank Kaka Bagyenda dayirekita waayo yabasabye okukwatako ssente ezimu bazitwalire poliisi ng'ekizibiti mu musango kubanga bbo aba ISO, tebalina nteekateeka kugenda nnyo mu maaso na musangoevitalizing lotion

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.