TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basiimye Nnabagereka ku kutumbula okuyimusibwa kw'omwana omuwala

Basiimye Nnabagereka ku kutumbula okuyimusibwa kw'omwana omuwala

Added 11th March 2019

“Ng’abakyala twetaaga obukulembeze obunaatuyamba okutakula ku nsonga ezisoomooza enkumu ze tusanga okuli obuli bw’enguzi n’ebirala nga byetaaga abakulembeze abeewaddeyo bwe kityo mbasaba mwe bannalotale okutendeka abaana abawala n’okubawa obusobozi okwanganga okusomoozebwa kwe basanga mu bitundu gye babeera.”

 Gavana wa Lotale atwala Uganda ne Tanzania, Sharmila Bhatt ng'akwasa Nnabagereka ekirabo ekimusiima okutumbula ensonga z'abaana abawala mu ggwanga.

Gavana wa Lotale atwala Uganda ne Tanzania, Sharmila Bhatt ng'akwasa Nnabagereka ekirabo ekimusiima okutumbula ensonga z'abaana abawala mu ggwanga.

NNABAGEREKA Sylivia Nagginda asiimiddwa abakyala bannalotale olw'obukulembeze bw'alaze mu kutumbula okuyimusibwa kw'omwana omuwala n'abakyala mu ggwanga okutwalira awamu.

Bino byabadde ku Serena Hotel ku Lwomukaaga ku kijjulo ky'abakyala bannalotale ng'ekirabo kino kyamukwasiddwa Gavana wa lotale atwala Uganda ne Tanzania,  Sharmila Bhatt.

"Ng'abakyala twetaaga obukulembeze obunaatuyamba okutakula ku nsonga ezisomooza enkumu ze tusanga okuli obuli bw'enguzi n'ebirala nga byetaaga abakulembeze abeewaddeyo bwe kityo mbasaba mwe bannalotale okutendeka abaana abawala n'okubawa obusobozi okwanganga okusomoozebwa kwe basanga mu bitundu gye babeera," Nnabagereka bwe yasabye abakyala abaliko we batuuse okuyamba ku bannabwe.

Omukolo guno gwategekeddwa wansi w'omulamwa ogugamba nti ‘Balancing for better' (okwenkanyankanya olw'obulungi bwa buli muntu) era Omukyala Carol Muyoka - Munnamateeka eyabadde omwogezi ow'enjawulo ng'ono nzaalwa y'e Kenya yasabye abakyala okukuza abaana abalenzi mu ngeri y'emu ng'abaana abawala kuba mu kino baakukula nga tebayisa maaso mu baana bawala, ate okulwanirira n'okutumbula ensonga z'abakyala zakwanguwa.

Pulezidenti wa lotale ya Kampala- Naalya, Denis Jjuuko yategeezezza nti emyaka 30 abakyala gye bamaze nga beegasse ku lotale gisitudde nnyo ekitongole kino kubanga bamalirivu era nga kibeera kikulu okubasiima mu kiseera ng'ensi ejaguza olunaku lw'abakyala.

Abakyala abasukkulumye ku bannaabwe mu bintu eby'enjawulo basiimiddwa olw'obuweereza bwaabwe n'ebirabo nga Ruth Nvumetta Kavuma omutandisi wa Forum for African Women Educationalist (FAWE) yasiimiddwa mu kkoowe ly'obukulembeze, Gerry Opoka owa Soul Fitness Ltd ye yasinze mu kkoowe ly'obuyiiya ate Vivian Kityo owa Wakisa ministries n'asinga mu kkoowe ly'obuweereza eri abantu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeetabye ku kijjulo kino n'ategeeza nti enkungaana bwe ziti nnungi mu kutendeka n'okulambika abakyala era kya kubeera kyangu okubitunulamu okulonda abaweereza abakyala. Oluvannyuma yakwasizza Muyoka ekirabo ekyamuweereddwa.

Abatumbuzi b'ensonga z'abakyala okuli Victoria Ssekitoleko- omukugu mu by'obulimi, Ritah Opondo ng'ono yakulira ekibiina ky'abakyala-UWONET ne Phyllis Kwesiga ng'ono wa KK Consulting Architects (mukubi wa pulaani),mu kukubaganya ebirowoozo basabye kaweefube akolebwe buli mwana muwala atwalibwe mu ssomero ng'eno gye bajja okuyigira eddembe lyaabwe ate n'okwekkiririzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...