TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine gwe yawanzeeko eddusu amuddire mu bigere e Kyaddondo awaga

Bobi Wine gwe yawanzeeko eddusu amuddire mu bigere e Kyaddondo awaga

Added 11th March 2019

OMULANGIRA Kharid Simbwa People Power gw'ewanzeeko eddusu okusikira Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine asekeredde abalina endowooza y’okumwesimbako nti bagira banuuna ku vvu kubanga ebyobuvuzi si bizinensi nti buli omu atandika.

Simbwa yagambye nti waliwo abantu abajja mu byobufunzi nga babitwala nga bizinensi okufunirako ekyokukola ekitali ku ye alina ebintu bye yeekoledde ekigenda okumusobozesa okuweereza obulunji abantu b'akiikirira, nga tasoose kwerowoozaako ng'omuntu.

Yategeezezza nti oluvannyuma lwa Bobi Wine okulengera entebe ennene yalabye nga ye muntu omutuufu agwanidde okumuddira mu bigere okusobola okunaazaako abantu ennaku abasigale nga basanyufu nga bwe babadde nga Kyagulanyi abakiikirira.

Simbwa yagambye nti omubaka alina obuvunaanyizibwa okusitula ekitundu kye nga ateekawo enjawulo wakati w'ekitundu kye n'abalala gye bakiikirira, yawadde ekyokulabirako nti mu kitundu ky'e Kyaddondo East, Bobi Wine gy'akiikirira abaana abayingira mu masomero banji tebamalaako abasinga bakoma mu S.4 abalala S.6, batono nnyo abatuuka ku University, bw'atyo ne yeeyama nti ebbanga ly'anaabeera omubaka w'ekitundu kino waakusala amagezi okusitula ebyenjigiriza.

Yategeezezza nti ebbanga lyamaze nga tali mu byabufuzi asobodde okufunira abantu emirimu ebweru w'eggwanga, n'asaba abantu b'e Kyaddondo East okumuwa obuvunaanyizibwa kw'anaasinziira okwongera okusitula omutindo gw'abantu naddala abavubuka mu by'enfuna byabwe.

Omulangira Khalid Simbwa y'omu ku beesowoddeyo okuvuganyanya ku bubaka bwa palamenti mu kitundu ky'e Kyaddondo East ekirimu omubaka Bobi Wine mu kiseera kino eyavuddeyo n'alangirira nti mu 2021 agenda kwesimbawo ku ntebe y'Obwapulezidenti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...