TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmeeya w'e Mukono akakasizza okwesambawo ne yegaana eby'okuvuganya Nambooze

Mmeeya w'e Mukono akakasizza okwesambawo ne yegaana eby'okuvuganya Nambooze

Added 11th March 2019

Mmeeya w'e Mukono akakasizza okwesambawo ne yegaana eby'okuvuganya Nambooze

 Kagimu Meeya w'e Mukono ng'annyonnyola

Kagimu Meeya w'e Mukono ng'annyonnyola

Meeya wa munisipaali y'e Mukono George Fred kagimu avuddeyo n'ayogera nga bwa tagenda kuvuganya na kulemesa Betty Nambooze Bakireke Ku kifo ky'omubaka wa munisipaali eno era n'ategeezezza nga bw'agenda okuvuganya Ku kifo kino ng'omuntu omulala yenna alina eddembe n'ebisaanyizo okwesimbawo olw'obwetaavu bw'abantu n'ekigendererwa eky'okumaliriza emirimu gya munisipaali eno ng'omubaka.

Ono okwogera bino yasinzidde ku bigambo ebizze biyitingana nga ab'ekibiina kya people power bwe bagenda okumuteekawo n'okumuwagira okujja Nambooze Ku kifo kino ky'amazeeko ebbanga ery'emyaka omwenda,nga n'abamu ku bekibiina kya DP,bamulabyemu obusobozi okutuusa ba nnamukono Ku nkulakulana gye beetaaga ssi nga meeya,wabula ng' omubaka.

Kagimu yategeezezza Bukedde nga bw'alina obuyinza okwesimbawo Ku kifo kino olw'ensonga nti munnauganda alina ebisaanyizo eby'enkomeredde okuvuganya Ku buli kifo ky'aba yeetaaze naddala ssinga wabaawo obwetaavu okuva mu balonzi, nga n'ekisingira ddala obukulu be bantu ab'ekibiina kyalimu okuba nga bamukkiririzaamu.

"Bannauganda balina okumanya nti teriiyo kifo kya bufuzi kya nkalakkalira nga kya muntu omu ate ssi musango okulaba nti abaali obumu beesimbyewo Ku kifo kimu. Ekisinga obukulu kwe kukuuma esuubi ly'abalonzi ng'otuukiriza obuvunaanyizibwa bwo,n'okubatuusa Ku nkulakulana gye beetaaga." kagimu bwe yagambye.

Yayongeddeko nti ekyamwongera esuubi gwe mutima ogw'obwetaavu abantu abasinga gwe balina gyaali okuli bannamukono abasiima emirimu gye, aba DP n' ab'ekibiina ekyakameruka ekya People Power,ekirimu abantu abakkiririza mu nsonga y'okuba nti ensibuko y'e nkulakulana,  ge maanyi g'abantu abakwatagana era abakolaganira awamu awatali kweyawula ate nga naye gwe mulamwa kw'atambulira. 

Ono era akuutidde bannauganda okukomya okwekotoggera ssinga wabaawo omukisa oguba gusukkulumye ku gwe baliko n'abasaba nate bulijjo okusanyukiranga ku bantu be baba bayambye ssinga baba balina edaala kwe babeera batuuse n'ekigendererwa oky'okwongera omutindo ku bukulembeze bw'ebitundu byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...