TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bawaddeyo abaana babwe eri aboobuyinza lwa kutigomya kitundu

Abazadde bawaddeyo abaana babwe eri aboobuyinza lwa kutigomya kitundu

Added 12th March 2019

Abazadde bawaddeyo abaana baabwe ababadde babba abantu nga beefuula abatunda sikulaapu.

 Lubuuka ku kkono  ne Nsubuga nga babatambuza ku kyalo.

Lubuuka ku kkono ne Nsubuga nga babatambuza ku kyalo.

Bya REGINAH NALUNGA

 

ABATUUZE mu muluka gwa Nabweru North II mu Kibwa Zooni e Wakiso bavudde mu mbeera ne bawaayo abamu ku baana  abato abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Kigambibwa nti abaana bano abakolera mu kibinja baludde nga  beefuula abasomba kasasiro oluvannyuma ne beesogga amayumba g'abantu ne bababba.

Kyategeerekese nti bulijjo ebintu ebibbibwa babadde babiguza abasubuuzi b'ebyuma ebikadde nga sikulaapu.

Bano okukwatibwa kiddiridde  omu ku batuuze okwekengera, Emma Lubuuka ow'emyaka 13  nti yandibaba omu ku kibinja ky'ababba ttaapu ye wiiki ewedde.

Ono yamuggalidde mu kiyungu  n'oluvannyuma n'akuba enduulu eyasombodde abatuuze n'abakulembeze b'ekitundu.

 Owebyokwerinda, Karim Ssengendo , yakunyizza Lubuuka okutuusa lwe yalonkomye banne bakola nabo okuli; Sharif Nsubuga eyeeyita Ivan , Bakari ne Marvin Mubiru nga bonna balina emyaka 13.

Lubuuka yagambye nti ebintu bye babba kuliko; ssente, engatto, amaseppiki, ebyuma ,sitoovu, amasigiri n'ebirala nga babiguza Fred Mukisa, 25  nga batandikira ku 1,000/-,.

Mukisa omusuubuzi wa sikulaapu e Nansana naye poliisi yamukutte.

 Oluvannyuma Lubuuka yakulembedde abatuuze n'abatambuza ekyalo okubalaga amaka ge baali babbyemu ebintu .

 ubuukangalaga abatuuze  engeri gye yasumululamu kkufulu ku nnyumba we babba ssente
 
Lubuuka ng'alaga engeri gye babba Lubuuka-ng'alaga abatuuze engeri gye yasumululamu kkufulu ku nnyumba we babba ssente.

Sulait Nsubuga, kitaawe wa Sharif Nsubuga yanaabidde mutabani we mu maaso n'agamba nti bulijjo amubuulirira nti okubba kibi.

Nsubuga yalagidde aboobuyinza okumutwala mutabani we asibwe asobole okukyuka.

Ssengendo ow'ebyokwerinda, omusango yagutadde ku bazadde b'agamba nti tebaagala kubanenyereza ku baana baabwe nga bakoze emisango.

Yalabudde n'abatunda sikulaapu okukomya omuze gw'okugula ebibbe.

Asabye gavumenti okuzimba amakomera g'abaana abato kuba batwalibwa ku poliisi n'ebayimbulwa nga beekwasa nti tebalina waakubakuumira.

Abaana bano bakuumibwa ku poliisi y'e Nabweru okwongera okubanoonyerezaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...

Kimbowa agamba nti yafunye obubaka obukwata ku bulwadde bwa Kabaka.

Omukinjagi ayagala kusisink...

OMUKINJAGI ayagala kusisinkana minisita w'ennono n'obuwangwa e Mmengo ne Katikkiro Charles Peter Mayiga ababuulire ...

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...