TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti egenda kunoonyereza ku kakiiko ka Bamugemereire ak'ettaka

Kkooti egenda kunoonyereza ku kakiiko ka Bamugemereire ak'ettaka

Added 12th March 2019

KKOOTI Enkulu egenda kunoonyereza ku kakiiko k’ettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire oba nga ddala kalina obuyinza obuwulira emisango egiri mu kkooti n’okulagira omuntu okuva ku ttaka

KKOOTI Enkulu egenda kunoonyereza ku kakiiko k'ettaka akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire oba nga ddala kalina obuyinza obuwulira emisango egiri mu kkooti n'okulagira omuntu okuva ku ttaka.

Kino kiddiridde Omulamuzi Andrew Bashaija okuyisa ekiragiro n'alagira Moses Kagga Bbira okudda ku ttaka lye yadde ng'akakiiko ka Bamugemereire kaali kaamulagira okulivaako. Mu bbaluwa eyawandiikibwa  omuwandiisi w'akakiiko Dr. Douglas Singiza nga February 21, 2019, yalagira  aduumira poliisi y'e Wakiso okuwa Safina Namutebi obukuumi bwonna asobole okudda ku ttaka lye ery'e Nsangi ly'alumiriza nti, Kagga yalimutwalako mu bukyamu. Omulamuzi Bashaija era ayimirizza poliisi y'e Wakiso okuteeka mu nkola ebbaluwa y'akakiiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono