TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka bakyewaggula ba NRM bagobeddwa mu lusirika e Kyankwanzi

Ababaka bakyewaggula ba NRM bagobeddwa mu lusirika e Kyankwanzi

Added 12th March 2019

ABABAKA ba NRM mukaaga baganiddwa okwetaba mu lusirika lw’akabondo k’ekibiina kino aka palamenti olugenda okumala wiiki nnamba e Kyankwanzi ng’entabwe eva ku kwewaggula ku kibiina ne bakola n’okwogera ebikontana n’endowooza yakyo.

 Omubaka John Baptist Nambeshe

Omubaka John Baptist Nambeshe

Abaaganiddwa Monicah Amoding (mukazi Kumi ), Gafa Mbwatekamwa (Kasambya), Barnabas Tinkasiimire (Buyaga West), Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga), Patrick Oshabe Nsamba (Kassanda) ne  John Baptist Nambeshe (Manjiya).

Omwogezi w'akabondo ka NRM mu palamenti Margaret Muhanga eyabadde n'omumyuka wa ssentebe w'akabondo kano Solomon Silwany baagambye nti ababaka ba NRM aboogeddwaako wagulu beeyisa ng'aboludda oluvuganya.

‘'Bano bawakanya buli kintu NRM ky'ereeta. Balonda nga baludda luvuganya. Bambala langi myufu ng'aba UPC '' Muhanga bwe yagambye. N'ayongera nti ssentebe wa NRM  Gen. Yoweri Museveni ye yalagidde  nampala w'ababaka ba NRM ,Ruth Nankabirwa okuyita ababaka bajje mu lusirika luno.

Olusirika lugenda kuggulwawo Pulezidenti Museveni era lukwajje okutuuka March 20,2019. Luli ku mulamwa :''Okulakulanya amakkolero okusobola okufuna emirimu n'abantu okuba obulungi''. Ababaka bagenda kukubaganya ebirowoozo ku bituukiddwaako n'ebikyagaanyi mu manifesito ya NRM okuva mu 2016.

Olusirika lugenda kulaba engeri okulakulanya amakkolero gye kugenda okuyamba okuleeta emirimu kiyambe okukendeeza ku bantu abayimiriddewo ku kulima emmere ey'okulya. 

Muhanga yagambye nti ekya Museveni obutavuganyizibwa ng'akwata bendera ya NRM mu 2021 tekiri ku lukalala lwa byakutesebwako kyokka n'agamba nti bwe wabaawo omubaka akireeta banne bajja kukikubaganyaako ebirowoozo basalewo eky'enkomerero. Aba CEC bakiriza Pulezidenti Museveni aleme kuvuganyizibwa.

Abamu ku babaka abaaganiddwa okugenda mu lusirika baagambye nti bagenda kwekubira enduulu mu kakiiko ka NRM akakwasisa empisa. Omubaka Nambeshe yagambye nti ekyakoleddwa kikontana ne Konsityusoni y'ekibiina ate Tinkasimire n'agamba nti kano kakodyo ka kwawulayawula bantu nga bw'ofuga

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...