TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amakulu agali mu kusonyiwa n'okusonyiyibwa mu Kisiibo

Amakulu agali mu kusonyiwa n'okusonyiyibwa mu Kisiibo

Added 12th March 2019

Amakulu agali mu kusonyiwa n’okusonyiyibwa mu Kisiibo

 Bp. Kazimba

Bp. Kazimba

ABAGOBEREZI ba Yesu Kristo bakubirizibwa okusonyiwa abo bonna ababasobya olwo nabo basobole okusonyiyibwa naddala mu kiseera kino eky'ekisiibo. Okusonyiwa kiyamba abakkiriza mu Kristo okusumulukuka mu mitima gyabwe era n'essaala zaabwe zisumulukuka ne zituuka eri Katonda. Abakulembeze mu ddiini ez'enjawulo bannyonnyola lwaki buli mukkiriza alina okusooka okusonyiwa abamusobya n'okwenenya eri Katonda amusonyiwe mu ekiseera ky'ekisiibo.

ENGERI ABAKRISTAAYO GYE BASOMESA KU KUSONYIWA MU KISIIBO

Omulabirizi w'e Mityana, Rt. Rev Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu agamba nti omukkiriza eyeenyigira mu kusonyiwa omuntu yenna abeera yamusobya kimuyamba naye Katonda okumusonyiwa.

Abakkiriza ffenna tusobya eri Katonda kubanga tewali atuukiridde era ne twenenya mu maaso ga Katonda asobole okutusonyiwa. Nga bwe tusaba Katonda okutusonyiwa nga tumusobezza naffe tusaanye tusookenga okusonyiwa abo abatukola obubi tweggyeko obusungu bwe tulina ku mitima gyaffe ne Katonda atusumululire emikisa gyaffe.

Okusonyiwa kulungi nnyo eri obulamu bwa buli muntu yenna obw'omwoyo n'obw'omubiri kubanga bw'osonyiwa ofuna emirembe mu mutima gwo era n'oyo omuntu gw'osonyiwe naye afuna emirembe mu mutima gwe.

Omuntu bw'asonyiwa, emikisa gye egibeera gyesibye gisumulukuka kubanga ekintu ky'abeera yasibira ku mutima gwe kibeera kivuddeko. Buli gy'okoma okusiba obusungu ku mutima n'emikisa gyo gyetoolako kubanga tewali kalungi k'oba osobola kulowooleza muntu yenna gw'oba wanyiigira ate nga Katonda ayagala abo abalina emitima emirongoofu.

Kino ekitabo ekitukuvu kikyogerako mu kitabo kya Luka 23:34 ne Mukama waffe Yesu Kristo ffenna Abakristaayo gwe tukkiririzaamu era gwe tugoberera naye yasonyiwa abo bonna abaamusobya naabo abaamukomerera ku musaalaba era n'abasabira eri Katonda abasonyiwe.

Bayibuli etuyigiriza okusonyiwa abo abatusobya emirundi 70 nga kino abakkiriza bonna balina okukigoberera basonyiwe abalabe baabwe naabo bonna ababasobya emirundi egitabalika. Mu bitabo by'enjiri ebina Yesu Kristo yasomesa ku kusonyiwa abantu abalala ne Katonda asobole okutusonyiwa era kino yakyogerera mu Lugero lwe yanyumiza abayigirizibwa be mu kitabo kya Matayo 18:35, olw'omukozi eyasaba ekisonyiwo eri Mukama we eyali amubanja n'amusonyiwa ebbanja eddene kyokka ye n'agaana okusonyiwa omuntu gwe yali abanja ekitono.

Mu lugero luno omukozi naye teyasonyiyibwa kubanga yagaana okusonyiwa gwe yali abanja era lutuyigiriza okusonyiwa abatukola obubi ate oluvannyuma naffe Katonda asobole okutusonyiwa.

ABAKRISTU KU KUSONYIWA Rev. Fr. Joseph Mukasa Nkeera, omwogezi w'essaza Ekkulu erya Kampala annyonnyola nti okusiiba bwe budde Katonda bwe yatuteerawo okugoberera amateeka ge era amateeka gano gatuwa omukisa okwekebera ne tutunula mu mbeera zaffe.

Olw'okuba nti Katonda ffenna yatutonda mu kifaananyi kye, ffena tulina okweyisa nga ye nga twagala bantu bannaffe era nga tusonyiwa abo bonna abatusobya. Olw'okuba nti ffenna twetaaga abantu bonna era ffenna tuli baana ba Katonda tulina okutabagana ne bannaffe abatukola obubi ne tubasonyiwa mu kiseera ky'ekisiibo ne mu nnaku endala zonna ng'ekisiibo kiwedde.

Famire nnyingi zitabuka olw'okuba nti tewabeerawo kunsonyiwagana ekivaako abamu okwawukana oba okubeerawo nga bali ku bugubi. Ku nsi kuno tekuli atuukiridde era ne mu kitabo Ekitukuvu waliwo omuvubuka eyali alowooza nti ye atuukiridde mu maaso ga Mukama wabula bwe yeebuuza ku Yezu yamugamba atunde byonna by'alina agabire abaavu. Kino kiraga nti teri atasobya eri Katonda era kyetaagisa okusonyiwa kubanga oyinza okwerowooza nti ggwe oli Mutuukirivu wabula ng'olina naawe by'otatuukiriza mu maaso ga Katonda; kino kiri mu Lukka 12:33 ne mu Matayo 19:21.

ABASODIKISI BANNYONNYOLA

Ate Fr. Mutaasa Kafeero, Vicar wa Eklesia y'Abasodokisi agamba nti ekisiibo kye kiseera omugoberezi wa Kristo mw'aweerayo obulamu bwe bwonna eri Katonda. Muno mwe muli okuleka ebyo byonna omubirigwe bye guba gwagala era n'okwetukuza eri Katonda. Mu kukola kino omugoberezi wa Kristo aba alina okusooka okusonyiwa abo bonna abamusobya ate n'alyoka yeenenya mu maaso ga Katonda. Ekikolwa ekisinga obunene kuba kwegayirira Katonda atusonyiwe.

Agamba nti buli muntu alina okusonyiwa munne eyamukola obubi nga tannaba kusaba Mukama kisonyiwo. Bw'osonyiwa abalala Mukama alaba omwoyo wo naawe n'akusonyiwa. Okukuuma obusungu ku mutima kibeera kibi era kisobola okukuviirako okulowooleza mu kukola omuntu oyo gwe Faaza Nkeera wanyiigira ekikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.