TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulambo gw'ofiisa wa poliisi gwayidde ne guggwaawo

Omulambo gw'ofiisa wa poliisi gwayidde ne guggwaawo

Added 13th March 2019

Omulambo gw’ofiisa wa poliisi gwayidde ne guggwaawo

 Omugenzi Christine Alalo

Omugenzi Christine Alalo

ESSUUBI ly'okuzza omulambo gwa ofiisa wa poliisi Christine Alalo, omu ku bantu 157 abaatokomokedde mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines kyenkana teririiwo bwe kizuuliddwa nti oludda kwe yabadde atudde, omuliro we gwatandikidde ng'ennyonyi yaakagwa ku ttaka era abasaabaze bonna abaabadde batudde mu mitto ku ludda olwo baayidde ne bafuuka evvu.

Aba kkampuni ya Ethiopian Airlines baakatemye aba famire ya Alalo eggulo wakati mu nteekateeka ezaakoleddwa poliisi ya Uganda okusindika ttiimu okugenda e Addis Ababa okwawula omulambo gwa Alalo ku mirambo emirala gusobole okuzzibwa mu Uganda aziikibwe mu bitiibwa.

Ttiimu eyalondeddwa okugenda mu Ethiopia okukola ku by'okuzza omulambo gwa Alalo yakulembeddwaamu omusawo omukulu owa poliisi ya Uganda Dr. Moses Byaruhanga, mukulu wa Alalo, James Okello n'omu ku bamulekwa Alvin Asiimwe. Mulekwa owookubiri Emmanuel Ahimbisibwe asangiddwa mu Canada gy'agenda okuva okwegatta ku ttiimu e Addis Ababa.

Peter Elamu, nga ye mwannyina wa Alalo yategeezezza Bukedde, eggulo nti beesitudde ne bagenda ku kitebekya kkampuni ya Ethiopian Airlines, era amaanyi gaabaweddemu maneja bwe yakabatemye nti essuubi ery'okuzza omulambo gwa Alalo nga guli wamu kyenkana teririiwo.

"Yatugambye nti bagenda kutugerezaako balabe oba bayinza okutufunirayo wakiri ku vvu lye, oba ebisiriiza byetunaaziika, naye essuubi ery'okufuna omulambo nga guli wamu teriiwo,"Elamu, bwe yategeezezza. Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Okoth Ochola, yasisinkanye aba famire ya Alalo, ku kitebe kya poliisi e Naguru ne babaako ensonga ezakkaanyiziddwako, oluvannyuma, abafamire ne baddayo mu maka g'omugenzi e Seeta ne batuuza olukiiko olulala okwongera okuteesa ku ngeri gye banatambuzaamu olumbe n'enteekateeka endala.

"Tusuubira nti mu bbanga lya wiiki emu oba bbiri, tujja kuba tumaze okutegeera oba tuyinza okuzuula ebisigara by'omuntu waffe oba nedda,"Elamu, bwe yayongedde okunnyonnyola.kubanga babadde baludde nga n'omuto eyazaalibwa ab'e Kenya tebamumanyi balaba bifaananyi.

Abazzukulu kwabaddeko Ryan Njoroge 7, Kelly Paul 5 ne Ruby Paul ow'emyezi mwenda gwe yazaalidde mu Canada abadde tebamuleetangako waabwe. Baabadde ku nnyonyi nga buli lwe bayimirirako ku kisaawe ekimu okukyusa ennyonyi nga baweereza muzeeyi John Quindos Karanja ebifaananyi ku WhatsApp.

Ensi yamuddugalidde ng'abantu be bataano basirikkidde mu kabenje k'ennyonyi ku Ssande e Bishoftu. Ennyonyi eno yabadde yaakasitula okuva ku kisaawe Bole International Airport mu Addis Ababa mu Ethiopia ng'eyolekera Nairobi e Kenya. Embuzi ssatu muzeeyi ze yabadde ategese okusala ku kabaga k'okubaaniriza baaziridde mu lumbe.

ABA KKAMPUNI YA BOEING BAFUNYE AMAGEZI KU NNYONYI EYAGUDDE

Ebizuuse ku nnyonyi ya Ethiopia eyagudde biwuniikiriza; kompyuta yaayo egiyamba okwetambuza yokka yeecanze olwo omugoba waayo n'atandika okulwanagana nayo, ng'ayagala okugirinnyisa waggulu kyokka ng'eralambala edda wansi.

Yategeezezza ab'oku kisaawe gye yabadde ava nti ennyonyi etandise okumutabukako era ne bamukkiriza okuweta addeyo kyokka nakyo ne kimulema ng'erwana yeesulika edda wansi okutuusa lwe yekkase ku ddimwa.

Kino kyongera okulaga nti abantu 157 abaatokomokedde ku nnyonyi eno baabadde tebalina mukisa gwonna kusimattuka kabenje kubanga ennyonyi yazikidde omulundi gumu n'egwa ng'omugugu .

Abakugu bategeezezza nti entabwe yavudde ku tekinologiya omupya ayitibwa ‘Maneuvering Chracteristics Augmentations System' (MCAS), ennyonyi eno gw'ebadde akozesa okuzuulibwamu omuze ogw'okusiba omulundi guno, ne kivaako yingini okuzikira, olwo ennyonyi n'ewanuka yokka mu bbanga n'egwa ku ttaka.

Aba kkampuni ya Boeing bategeezezza nti oluvannyuma lw'okuzuula obuzibu we bwavudde, basazeewo okwongera mu buyiiya n'okusitula omutindo mu tekinologiya ayitibwa ono gwe bagenda okussa mu buli emu ku nnyonyi ey'ekika kya Boeing 737 MAX 8. Aba Boeing baasuubizza okufulumya tekinologiya omupya ng'omwezi ogujja ogwa April 2019 tegunnaggwaako ne bategeeza nti ensi erina okubeesiga nti ennyonyi zaabwe tezirina buzibu bwonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...