TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabaddewo ng'abazigu balumba Bbanka ya Barclays e Nakulabye

Ebyabaddewo ng'abazigu balumba Bbanka ya Barclays e Nakulabye

Added 13th March 2019

Ebyabaddewo ng'abazigu balumba Bbanka ya Barclays e Nakulabye

 Poliisi ng’esazeeko bbanka ya Barclays ettabi ly’e Nakulabye eryazindiddwa abazigu.

Poliisi ng’esazeeko bbanka ya Barclays ettabi ly’e Nakulabye eryazindiddwa abazigu.

ABAZIGU baalumbye bbanka ne bakuba abakuumi kalifoomu ne basala eddirisa ne bayingira munda okunyaga.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeeseza ku Lwokubiri abazigu babiri abaabadde bambadde obukookolo baalumbye Barclays bank ettabi ly'e Nakulabye n'ekigendererwa eky'okunyaga ensimbi kyokka ne balemererwa okubaako kye batwalamu olw'akadde (Alarm) okuteguka ne kabatiisa.

Abazigu bano baalumbye ku saawa 9:43 ekiro ne basooka baggyako kkamera y'emmanju olwo ne bakozesa makansi okusala amadirisa 2 okuli ery'emmanju ne mu mbiriizi ne babuuka ne bayingira munda.

Kyokka bwe baatuuse munda akadde ne kateguka ne kavuga. Baagezezzaako okukaggyako era bakakikitanyizza okumala eddakiika nga nnya era bwe baalabye kagaanye nebadduka.

Moses Nteziyarunye omu kubakulira kkampuni ya SGA Security Group abakuuma bbanka eno yannyonnyodde nti munda mu bbanka mwabaddemu obudde obwayungibwa obutereevu n'ekitebe kyabwe era kwe baategeeredde nti balumbidwa kwe kutemya ku poliisi ya Old Kampala nayo eyatemezza ku ye Nakulabye ne basitukiramu okutaasa embeera.

Kiteeberzebwa nti abakuumi baaweereddwa kalifoomu mu mmere eyekyeggulo gye baalidde okuva mu katale e Nakulabye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano, Patrick Onyango yakakasizza obulumbaganyi buno n'ategeeza nti bakyagenda mu maaso n'okwekebejja obutambi obwakwatidwa ku kkamera za bbanka wamu n'okubaako bye babuuza abakuumi.

OBUBBI OBULALA OBUZZE BUKOLEBWA KU BANKA

Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde nga March 5, 2019 abazigu ab'emmundu baateega emmotoka y'ekitongole ky'abakuumi ba SGA eyali etambuza ssente za Stanbic Bank era muk uwanyisiganya amasasi babiri baafirawo.

Mu August 2018, poliisi e Masaka yakwata abavubuka basatu abaali bagezaako okubba omu ku bakasitoma ba DFCU bank e Masaka kyokka ne bakwatibwa oluvannyuma lwa maneja wa bank okubalaba ku kkamera n'atemya ku bakuumi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...