
Bakansala nga balonda.
BAKANSALA ku lukiiko olufuga Kampala bakubye akalulu ku baserikale ba KCCA abaayimiriziddwa minisita Beti Kamya ne basalawo baggulweko emisango ate basimbibwe mu kkooti yennyini etuula ku City Hall.
Baawakanyizza eky'okubatwala mu bukiiko obukwasisa empisa mu kitongole nti emisango gye bazza gisusse ku buyinza bw'obukiiko obwo kubanga abasuubuzi be bazze bakwata nti bakolera mu bifo ebitakkirizibwa babadde babasimba mu kkooti.
Bino baabisaliddewo mu lukiiko olwatudde ku City Hall nga lukubirizibwa Loodi meeya Erias Lukwago. Bakansala baasoose kukubagana mpawa ng'abamu bagamba nti abaserikale abo be bayimirizaawo ekitongole mu kukwasisa amateeka n'okusolooza omusolo nti tebasaana kuyisibwa ng'abatali bakozi baabwe.
Kino kyaleeseewo okusika omuguwa mu kuteesa bakansala omuli Alice Amony, Madiina Nsereko, Abubaker Kawalya , Mohamed Ssegirinya, Ismail Tabalamule ne meeya wa Kampala Central bwe baggyeeyo ensonga lwaki bateekwa okusimbibwa mu kkooti.
Wabula abalala okwabadde Daudi Lwanga, Doreen Sabuka ne Bruhan Byaruhanga baategeezezza nti basobola bulungi okukozesa enkola ekwasisa empisa n'okubonereza abakozi munda mu kitongole.
Lukwago okusalawo eggoye baakubye akalulu abangi ne basalawo nti baggulweko emisango ate basimbibwe mu kkooti etuula ku City Hall. Meeya Sserunjogi yaleetedde bakansala okukwatibwa obusungu bwe yababuulidde nti abadde omu ku batulugunyizibwa abaserikale. "Abaserikale bakuba bubi abasuubuzi era nange olumu nabagambako ne bamboggolera nti bayinza okunkwata kubanga tebakolera wansi wa bannabyabufuzi era eyakimugamba y'omu ku baayimiriziddwa," Sserunjogi bwe yategeezezza.
EBYASALIDDWAAWO Okutembeya mu Kampala si musango era tekuwerebwangako. Wabula naye ekyetaagisa KCCA kutereeza basuubuzi bakolere mu mbeera ennungi.
Buli muserikale wa KCCA ateekwa okugoberera amateeka era ageza ne yeewaggula agenda kuvunaanibwa nga muntu. Abateembeyi babawe layisinsi ezibakkiriza okukola mu mateeka nga bwe batereezebwa.
Kyokka dayirekita wa Kampala Andrew Kitaka eyabadde ne munnamateeka w'ekitongole Charles Ouma, omwogezi Peter Kaujju, Julius Kabugo ne Harriet Mudondo atwala obutale yategeezezza nti bagenda kulondoola byonna era abasuubuzi bagenda kubategekera kyokka tekitegeeza nti buli omu bagenda kumufunira